TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri

By Joseph Mutebi

Added 5th December 2019

Bebe Cool atongozezza Kampeyini y'okulwanyisa TB oluvannyuma lw'okusaka ensimbi ezikunukkiriza obuwumbi bubiri

Hat12 703x422

Bebe Cool ng'ayogera mu lukung'aana lwa Bannamawulire

OMUYIMBI Bebe Cool ng'ayita mu kibiina kye ekya Amber Heart Foundation ekyegattirwamu abasawo abakugu bafulumizza alipoota ekwata ku kirwadde ky'akafuba ng'eraga nti abantu wakati 20-30 bebafa obulwadde bwa TB buli lunaku mu Uganda.

 nsimnbi ezikunukkiriza mu buwumbi 2 ebe ool ze yasakidde abalwadde ba Ensimnbi ezikunukkiriza mu buwumbi 2 Bebe Cool ze yasakidde abalwadde ba TB

Alipoota eyongedde okulaga nti abantu 90000 beebafuna obulwadde bwa TB buli mwaka nga ku bano 40000 bali mu byalo.

Lipoota eno esomeddwa Dr Isiko Paul Kawanguzi mu lukiiko lw'abannamawulire olutudde olwaleero ku Torino Bar e Kololo Bebe Cool mwayanjulidde ettu ly'ensimbi obuwumbi obukunukkiriza mu bubiri bwe yasakidde abalwadde ba TB okuva mu ggwanga lya Vietnam.

r aul siko ngannyonnyola ku bulwadde bwa Dr Paul Isiko ng'annyonnyola ku bulwadde bwa TB

Bebe Cool kati amaze emyaka ebiri nga ye Ambasaasdor wa TB mu uganda era ategeezezza nti oluvannyuma lw'okufuna ssente zino agenda kutandikirawo kaweefube w'okutalaaga ebitundu eby'enjawulo nga basomea abantu ku kirwadde kya TB olw'ensonga nti abantu bangi abafiira mu butamanya kati kye kiseera bafune okuyambibwa nga bayita mu kibiina kya Bebe Cool ekya Amber Heart Foundation.

Bebe agasseeko nti kasita yafuna amawulire nti kati ensagi zino abantu abafa akawuka ka TB basinga abafa Siriimu mu Uganda yafuna okutya era kwe kusalawo okukulemberamu kampenyini eno okutaasa ku bantu olw'ensonga nti eddagala elijjanjaba TB mu malwaliro gye liri ate lya bwereere.

Dr Isiko awadde abantu amagezi nti bwe balaba obubonero omuli olusujjasujja olutawona, okkolola okutaggwa ssaako n'okukolola omusaayi banguwe okugenda beekebeze akawuka ka TB ng'embeera tennasajjuka basobole okufuna obujjanjabi.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi