TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba buli lunaku mu Uganda

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba buli lunaku mu Uganda

By Martin Ndijjo

Added 5th December 2019

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu ggwanga,

Ppp2 703x422

Okuva ku kkono; Dr. Paul Kawanguzi

Amangu ddala nga yakadda okuva mu ggwanga lya Vietnam gye yasisinkanidde abavujjirizi b’ensimbi mu by’obulamu,

Omuyimbi  Bebe Cool (Moses Ssaali) akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kawefube ow’okumanyisa n’okulwanyisa obulwadde bw’akafuba (TB) emu ku ndwadde zi nnamutta mu ggwanga,

Mu lukung’aana lwa bannamawulire lwatuzizza enkya ya leero, Bebe Cool ategezezza nga ekibiina kye ekya Amber Heart Foundation bwe kyafunye ddoola 398,344 mu za Uganda 1,470,938,598 okuva mu ba TB Reach mu ggwanga lya Vietnam nga zino zigenda kweyambisibwa mu kusomesa n’okumanyisa abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo akabi akali mu bulwadde buno, engeri y’okubujanjaba n’okubwewala, obubonero kw’olabira omuntu alina akafuba n’ebirala

Anyonyodde nti oluvannyuma lw’okumatiza abagabirizi b’obuyambi nti asobola okubayamba mu kulwanyisa akafuba,

Bamuwadde ssente zino mu mbeera ey’okumugezezza okumala ebbanga lya mwaka gumu era bwanakola obulungi obuvunanyizibwa buno baddemu bamuwe ssente enddala.

 ebe ool nga bamukwasa ceeke e ietnam Bebe Cool nga bamukwasa ceeke e Vietnam.

Dr. Paul Kawanguzi Isiko okuva mu Uganda Stop TB Partnership (USTP) asinzidde mu lukung’aana lwe lumu nategezza nga obulwadde buno bwe buli bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda nga abantu 20- 30 be bafa buli lunaku mu ggwanga olw’akafuba.

Akubirizza abantu okugenda okwekebeeza abazuuliddwa nga babulina bafune obubafune n’obujjanjabi kubanga bwa bwerere mu malwaliro naddala ago aga gavumenti.

Dr. Isiko agambye nti wadde obulwadde buno buwona, obuzibu buli ku bantu abatafuddeyo kwekebeeza n’abbo abagaana okumira eddagala mu butuufu bwa lyo.

Alipoota y'ebyobulamu eraga nti Uganda ekyali mu mawanga 30 agakyasinga okukosebwa olw’obulwadde buno mu nsi.

Obulwadde bwakafuba bukyali bwa bulabe nnyo eri obulamu bwa Bannayuganda abantu 80,000 be balwala n’okufa obulwadde buno buli mwaka omuwendo oguli waggulu ku 60,000 abafa n’okukwatibwa akawuka ka siriimu.

Emyaka ebiri egiyise Bebe Cool yalondeddwa ab’ekitongole kya ‘Uganda Stop TB Partnership’ (USTP) nga bali wamu ne ‘Geneva Partners United Nations Office for Project Services’ (UNOPS) okubeera ‘Ambasada’ wabwe mu Uganda mu kawefube gwe baliko okufufugazza obulwadde bw’akafuba  emu ku ndwadde zi nnamutta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo