TOP

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2019

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Nicho 703x422

Ffaamu ya taata wa Bobi Wine.

Mzee Ssentamu yaleka ettaka eriwerako mayiro bbiri n’ekitundu (yiika 1,600). Ettaka lino yalinako ffaamu y’ente n’ennimiro ate ekitundu ekirala kibira.

Ettaka likuumibwa muganda wa Bobi Wine Ben Ssempiira. Wiiki ewedde nga November 29, amagye nga gali ne poliisi gaasazeeko ettaka lino erisinga okubeerako abookya amanda n’abalundirako ente.

Abasinga basula mu nnyumba za ssubi n’amatundubaali. Abaserikale baasazeeko ekifo ku ssaawa nga 2:00 ekiro ne basasaana ku ttaka lino.

Bwe bwabadde busaasaana ne batandika okufuuza nju ku nju nga babuuza buli omu ebimukwatako. Abamagye baamazeewo ennaku bbiri ne bagenda kyokka poliisi n’esigalayo ng’erawuna.

Ettaka liri ku kyalo Lwaweeba mu muluka gw’e Degeya e Maddu. Okutwalayo amagye kiddiridde okwekengera kw’abavunaanyizibwa ku byokwerinda nga bagamba nti ettaka eryo likolerwako ebintu ebimenya amateeka n’abantu abaliriko tebategeerekeka bulungi.

ALABIRIRA FFAAMU ANNYONNYODDE

Ben Ssempiira yagambye nti yasooka kuwulira lugambo nti atendeka abayeekera. Ekyaddirira ye mubaka wa Gavumenti (RDC) n’akulira bambega mu disitulikiti (DISO) kumuyita abannyonnyole.

N’abagamba nti ku ffaamu apangisaako abookerako amanda n’abalundirako ente abamusasula buli mwezi.

Bakkaanya nti abeebyokwerinda baali baakugendayo nga November 15, balambule ffaamu n’okusisinkana abakolera ku ttaka. Kyokka tebajja. Wiiki ewedde yalabidde awo ng’amagye gasazeeko ffaamu. Baakutte abantu abawerako ne babatwala ku poliisi e Maddu.

“Simanyi kye batwagaza. Nze siri munnabyabufuzi. Bobi Wine akakwate k’alina ku ffaamu kwe kuba nga ya taata waffe”, Ssempiira bwe yagambye.

OW’EGGOMBOLOLA AYOGEDDE

Vincent Mugenyi, ssentebe wa LClll, e Maddu yagambye nti baayisa etteeka erigoba abantu bonna mu ggombolola abatamanyiddwa mu kitundu.

Beesanga nga balina abantu abasukka 20,000 abaava e Congo ne Rwanda, kyokka nga baagaana okweyanjula ku LC babamanye.

Ekivudde mu kino be bantu be batamanyi okutandika okufa nga mu myaka esatu baziise 21 abatamanyiddwaako bibakwatako. Kwe kutuukirira ebitongole by’ebyokwerinda ebyabawadde abaserikale ba poliisi n’amagye ne bakola ebikwekweto okukwata abantu abatamanyiddwa mu kitundu.

N’agamba nti abamu abaakwatiddwa baabadde bagwira baabazzizza ewaabwe kubanga engeri gye baayingira mu Uganda tetegeerekeka. Nga waliwo okutya nti bandyenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.

Kyokka abaakwatiddwa nga balina densite z’eggwanga baayimbuddwa. Omulimu gw’okubasunsulamu gwakoleddwa ba LC. Mugenyi yagambye nti ebikwekweto bikyagenda mu maaso.

N’asaba ensonga zireme kuyingizibwamu byabufuzi kubanga ebikwekweto tebikomye ku ffaamu ya famire ya Bobi Wine wabula ne ku ffaamu endala.

RDC NAYE ANNYONNYODDE

Ruth Kashaka omubaka wa Pulezidenti e Gomba yagambye nti yabadde mabega wa bikwekweto bino era kituufu waliwo abantu be baagobye ku ffaamu ye Lwaweeba oluvannyuma lw’okusangibwa nga tebalina biwandiiko biboogerako.

N’agamba nti abaasangiddwa n’ebiwandiiko ebituufu baalekeddwa era gye bali bakola. Yaweze bw’atajja kukkiriza bantu bava gye bavudde ne basenga mu Gomba mu bukyamu n’ategeeza nti omutuuze omulungi yenna abeera n’ebimwogerako.

Omu ku baagobeddwa (amannya galekeddwa) yagambye nti yava Nakulabye mu Kampala yategeezezza nti baasooka kuwulira mawulire ku leediyo emu e Gomba nga gagamba nti ku ffaamu ya ffamire ya Bobi Wine kwali kulabiddwaako abayeekera.

Oluvannyuma ennyonyi z’amagye zaatandika okwewuuba mu kitundu, kyokka nga ziyitira ddala wansi ne kirowoozesa nti zaaliko bye ziketta.

“Bambuuzizza densite, gye nnava n’ebikwata ku famire yange. Byonna baabiwandiise ne balyoka bandagira nzireyo gye nnava”, bwe yannyonnyodde.

FFAMIRE EKAAYANIRA FFAAMU Bukya Mzee Ssentamu afa mu February 2015, wabaddewo okukaayana mu ffamire ng’abaana abamu baagala esalibwemu buli omu afuneko awawe.

Abalala bakiwakanya nga baagala ettaka lisigale wamu nga lya ffamire. Ate abaagala ligabanibwe nabo tebakkaanya ku ngabana.

Ssentamu yaleka abaana abasoba mu 40. Kigambibwa nti obutakkaanya ku ngabanya y’obugagga bwe kye kikyalemesezza okwabya olumbe lwe.

Amyuka ssentebe wa disitulikiti y’e Gomba, Ivan Kizito yagambye nti ffaamu eyo agimanyi era aludde ng’amanyi nti kuliko abapangisaako ne balundirako ente n’okwokya amanda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo