TOP

Kkamera gwe zaakwata ng’abba bbooda bamukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2019

OMUSAJJA kkamera za poliisi e Mukono gwe zaakwata ng’abbye boodabooda mu bitundu by’e Nansana-Ganda akwatiddwa mu bitundu by’e Kyenjojo gy’abadde yeekukumye.

Gofo 703x422

Kkamera lwe zaakwata Musinguzi. Musinguzi ng’ali ku mpingu.

Joseph Kijampola Musinguzi yadduka e Ganda gye yali abeera oluvannyuma lw’okubba bbooda ya Daudi Ssemukete.

Okukwatibwa kyaddiridde Musinguzi okwenyigira mu bubbi bwa bbooda e Kyenjojo n’abalala babiri wabula poliisi e Kyenjojo n’ebakwata n’ebaggalira.

Poliisi mu kwekenneenya yakizudde nti ye Musinguzi eyakwatibwa kkamera za poliisi mu bitundu by’e Mukono ng’abbye ppikippiki nnamba UEX 125V. Baategeezezza ekitebe ky’aba mbega ba poliisi e Kibuli ku mubbi ono.

Baamutumizza n’aleetebwa okuva e Kyenjojo okutuuka e Kibuli gye yasuze ku Lwokuna.

Ku Lwokutaano yatwaliddwa ku poliisi e Nansana omusango gye gubadde n’aggalirwa mu kaduukulu era leero asuubirwa okutwalibwa mu kkooti e Wakiso.

MUSINGUZI AKKIRIZZA OKUBBA BBOODA

Musinguzi nga yaakatuusibwa ku poliisi e Nansana, yategeezezza nti kituufu yakuba Ssemukete akatayimbwa era yali amanyi nti amusse okusinziira ku ngeri gye yakamukubamu kyokka kyamwewuunyisa okumulaba ku Bukedde TV nga mulamu.

Yagambye nti yali yeetikka migugu mu kibuga kyokka n’ayingira obubbi asobole okufuna ssente amangu.

Yategeezezza poliisi nti mu mwezi abba bbooda ezitakka wansi wa nnya. Musinguzi yakuba Ssemukete akatayimbwa nga October 3, 2019 mu bitundu by’e Nansana-Ganda n’amutwalako ppiki ye gye yali yaakagula.

Omwogezi wa Poliisi mu Kamapala n’emiriraano, Patrick Onyango yakakasizza okukwatibwa kwa Musinguzi n’agamba nti babadde bakyamulondoola ate poliisi y’e Kyenjojo kwe kubategeeza nti bamukutte ku musango omulala ogw’okubba bbooda.

Onyango yagambye nti Musinguzi agenda kuvunaanibwa emisango gy’okugezaako okutta omuntu n’okubbisa eryanyi mu kkooti e Wakiso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.