TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by’abakyala be abaanoba

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke ku by’abakyala be abaanoba

By Josephat Sseguya

Added 6th December 2019

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka abalala batadde omuyimbi Haruna Mubiru mu kasonda ne bamukunya olw’okulagajjalira bakyala be naddala Raudha Ssonko muwala w’omugagga Guster Lule Ntakke.

Kutte1 703x422

Kitooke ng’aliko byannyonnyola Omulangira Nakibinge (ku kkono) ne Sheikh Muzaata.

Mukimanye twakkaanya bukkaanya agende mu Amerika era gy’abeera naye mwe muluzunza nti nayawukana naye. 

 itooke ne adija umala Kitooke ne Hadija Lumala

 

 emira ayimba naye mu ream roduction Kemira ayimba naye mu Kream Production

 

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira
Kassim Nakibinge, Omulangira
Kakungulu Kalifaani,
Sheikh Nuuhu Muzaata ne
bamaseeka abalala batadde
omuyimbi Haruna Mubiru
mu kasonda ne bamukunya
olw’okulagajjalira bakyala be
naddala Raudha Ssonko muwala
w’omugagga Guster Lule
Ntakke.
Omukyala omulala ye Hadja
Lumala muwala wa Moses Lumala
eyali omuvuzi w’emmotoka
z’empaka. Nakibinge ye yayise
Haruna nti mutabani: mu kutya
okungi, Haruna yayitabye
ne yeewombeeka n’agenda
mu maaso ge era ng’alabika
ng’atidde olw’ebigenda okumubuuzibwa
wadde ate yalabise
ng’atakisuubidde nti bya
bakyala be.
Awo Nakibinge we yasabidde
aba kkamera basooke baveewo
ayogeremu ne Haruna. Baamaze
akaseera nga Haruna
bw’anyenya omutwe
ku bimugambibwa
mu ngeri
y’okwegaana
ate oluvannyuma
n’ajja
akamwenyumwenyu.
Yatambudde
ng’awerekera
ku Bamaseeka
bano buli
omu ku mmotoka ye era
bwe baagenze n’asigala awo
ng’abirowoozaamu. Yalabye
babuliddeyo n’ategeeza nti:
‘‘Ebintu byava ku mwe
bannamawulire nga mugamba
nti mukyala wange
Raudha yanoba. Mukimanye
twakkaanya bukkaanya
agende mu Amerika era
gy’abeera naye mwe muluzunza
nti nayawukana naye.
Hadja Lumala naye gy’ali’’.
Kitooke yategeezezza nti
Omulangira yambuuzizza ku
Raudha oba bye yawulira
nti twayawukana bituufu ne
mutangaaza nti si bituufu
omukyala ndi naye era
nabadde mu Amerika nga
hhenze okumulabako. Jjajja
w’Obusiraamu anneebazizza
okunywerera ku bufumbo
n’okutambulira mu kifaananyi
eky’Obusiraamu.
Abaamawulire mumanye
nti nze bakyala bange sikyabalaga
bye babaako naye ate
mwe bwe muba temubalaba
nga mutandika okubatambuzaako
olugambo. Omukulu
mutegeezezza nti Raudha
mulinamu n’abaana basatu
ate Hadja mulinamu babiri.
Faridah Kitooke yagenda
atya?
Oyo namuta n’agenda
tetukyalina nkolagana wabula
sijja kumwogerako bingi
kubanga maama wa mwana
wange. Kyokka Faridah
talina kwewaana kubanga
mu vidiyo ya Kitooke
kifansalira ye yali asingamu
obulungi kubanga mwalimu
abalala ng’ekiwala ki Zuula.
Zaina lwaki naye yagenda,
towangaaza bakazi?
Ndi musajja ayagala
obulamu bwe. Ekireetera
omusajja okubeera
n’abakazi abangi kwe
kunoonya oyo amutegeera. Ate ekyawukanya
omusajja n’omukazi biba bingi naye nze
ekiyinza okunnemya omukazi busezi waakiri
awo mbeera n’omulogo. Ate okubeera
n’omulogo mbeera n’omuyombi. Bwe batyo
bwe tuweza omuwendo gw’abakazi nga
tunoonya abatuufu. Baabadde mu maka ga
Hajji Moses Katongole e Kanyanya wiiki
ewedde muwala we ng’akyaza omwami we.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi