TOP

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala - Sseggona

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2019

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti, olw'okuba bakulu banne nga Besigye baalemwa okumuggya mu bukelembeze, nti n’eggye ly'abavubuka ligenda kulemwa.

Omumyuka 703x422

Msgr. Kanyike ng’akwasa Margaret Babirye (wakati) bayibuli omusika wa Asiisi Tereeza. Mu katono ye mubaka Sseggona

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti, olw'okuba bakulu banne nga Besigye baalemwa okumuggya mu bukelembeze, nti n’eggye ly'abavubuka ligenda kulemwa. "Abagamba nti tuleese Bobi Wine muto era taabisobole mulimba.

Ffe abantu baatugambye nti, kassukaali tukongeremu”, Sseggona bwe yagambye. Bino yabyogeredde Nabaziza - Kyengera mu ggombolola y'e Nsangi ku mukolo gw'okwabya ennyimbe z'abagenzi Maria Nankusu Kawooya eyali nnyina w'omukozi wa Bukedde, Christine Nakubulwa nga yasikiddwa Mary Nankusu ne Asiisi Tereeza eyasikiddwa Babirye Margaret.

Sseggona yagambye nti nga batuuse mu bukulembeze baakulaga abantu enfuga ennungi bwe yandibadde era ne pulezidenti Museveni naye abalabireko.

"Mbagumya nti muzeeyi tetugenda kumusiba wadde okumulumya wabula tugenda kumuggya mu ntebe tumuzze e Rwakitura tumulage enfuga ennungi naye agirozeeko, era mmanyi waakwejjusa agambye nti yii, singa nange ekyo nakikolanga”, Sseggona bwe yakkaatirizza.

Yagambye nti omwezi gwa December gwa kulunga era baakugumalako nga batabula kassukaali n'akubiriza abantu baleme kukoowa na mirundi gye babatambuza wabula banoonye yonna gye banaasanga abatereeza enkalala z’abalonzi batereeze amannya gaabwe nga eno y'engeri gye bagenda okusobola okulonda.

Omukolo gwakulembeddwa ekitambiro kya Mmisa eyasomeddwa Msgr. Lawrence Kanyike eyakubirizza abantu okudda eri Katonda naye alyokke abawanguze.

Omukolo gwetabiddwaako bannabyabufuzi ku mitendera egy'enjawulo n'abakungu okuva e Mmengo okwabadde omumyuka wa Ssebwana Vincent Kayongo nga ono yawadde abantu amagezi okunyweza obuwangwa bwabwe kubanga bwe bulambika obuvo bwabwe n'obuddo.

Kato Mathias sipiika w'olukiiko lw'eggombolola y'e Nsangi Ssaabagabo yagambye nti, Maria Nankusu yali muntu mwetowaaze ng’ayagala Katondaera nga tasuulirira nsonga za Bwakabaka.

 

 

 

 

 

 

OMUBAKA wa Busiro East
mu palamenti, Medard
Lubega Sseggona ategeezezza
Pulezidenti Museveni
nti teyeeyibaala nti,
olw'okuba bakulu banne
nga Besigye baalemwa okumuggya
mu bukelembeze,
nti n’eggye ly'abavubuka
ligenda kulemwa.
"Abagamba nti tuleese
Bobi Wine muto era
taabisobole mulimba. Ffe
abantu baatugambye nti,
kassukaali tukongeremu”,
Sseggona bwe yagambye.
Bino yabyogeredde
Nabaziza - Kyengera mu
ggombolola y'e Nsangi
ku mukolo gw'okwabya
ennyimbe z'abagenzi
Maria Nankusu Kawooya
eyali nnyina w'omukozi
wa Bukedde, Christine
Nakubulwa nga yasikiddwa
Mary Nankusu ne
Asiisi Tereeza eyasikiddwa
Babirye Margaret.
Sseggona yagambye
nti nga batuuse mu
bukulembeze baakulaga
abantu enfuga ennungi
bwe yandibadde era ne
pulezidenti Museveni naye
abalabireko.
"Mbagumya nti muzeeyi
tetugenda kumusiba wadde
okumulumya wabula tugenda
kumuggya mu ntebe
tumuzze e Rwakitura tumulage
enfuga ennungi naye
agirozeeko, era mmanyi
waakwejjusa agambye nti
yii, singa nange ekyo nakikolanga”,
Sseggona bwe
yakkaatirizza.
Yagambye nti omwezi
gwa December gwa kulunga
era baakugumalako
nga batabula kassukaali
n'akubiriza abantu baleme
kukoowa na mirundi gye
babatambuza wabula
banoonye yonna gye banaasanga
abatereeza
enkalala z’abalonzi batereeze
amannya gaabwe nga
eno y'engeri gye bagenda
okusobola okulonda.
Omukolo gwakulembeddwa
ekitambiro kya Mmisa
eyasomeddwa Msgr. Lawrence
Kanyike eyakubirizza
abantu okudda eri Katonda
naye alyokke abawanguze.
Omukolo gwetabiddwaako
bannabyabufuzi
ku mitendera egy'enjawulo
n'abakungu okuva e
Mmengo okwabadde
omumyuka wa Ssebwana
Vincent Kayongo nga ono
yawadde abantu amagezi
okunyweza obuwangwa
bwabwe kubanga bwe
bulambika obuvo bwabwe
n'obuddo.
Kato Mathias sipiika
w'olukiiko lw'eggombolola
y'e Nsangi Ssaabagabo
yagambye nti, Maria
Nankusu yali muntu
mwetowaaze ng’ayagala
Katondaera nga tasuulirira
nsonga za Bwakabaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi