TOP

Owa Bukedde awangudde engule

By Musasi wa Bukedde

Added 7th December 2019

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards

Awar 703x422

Martin Ndijjo n'engule gye yawangudde

Omuwendo gwa bavubuka abasoma ne batafuna mirimu kukyali kusoomozebwa kwa maanyi era kizibu kino kyetaga okukolebwako kubanga kikosa enkulaakulaana y’eggwanga.

Buno bwabadde bumu ku bubaka bwa Lorenzo Gambacorta amyuka omubaka wa Yitale mu Uganda eri abantu abeetabye ku mukulu ogwategekeddwa aba Rising Star Awards ku Skyz Hotel ku Lwokutano ekiro okusiima n’okukwasa abawanguzi mu mpaka zino engule zabwe,

 orenzo ambacorta owokusatu ku ddyo eyabadde omugenyi omukulu Lorenzo Gambacorta (ow'okusatu ku ddyo) eyabadde omugenyi omukulu.

Yawadde eky’okulabirako nti abantu ebitundu 70 ku 100 mu Uganda bavubuka, wadde bafubye okusoma bangi tebafuna mirimu abayizi abasoba mu 400,000 be batikkirwa buli mwaka okuva mu matendekero ag’enjawulo kyokka kubano 90,000 be bafuna emirimu bokka.

Omukolo gwabadde gwa ssanyu nga abantu ab’enjawulo bafuna engule ne satifiketi zabwe.  

Martin Ndijjo omuwandiisi w’emboozi z’ebyamasanyu ne basereebu mu lupapula lwa Bukedde era nga akola ne ku Bukedde Tv  eyasitukidde mu ngule ya munnamawulire w’omwaka (Star Media personality)

Mu kwogera yeebazizza abategesi b’empaka zino olw’omulamwa omulungi ogugendereddwamu okuzaamu abavubuka amaanyi nga basiima abbo abasuukulumye ku balala mu biti eby’enjawulo.

 evixone Levixone.

Abawanguzi abalala kuliko; Fresh Kid  (Trending Star 2019), Nina Roz (Diva Star),  Levixone-Chikibombe (Hit Song) , NBS Un Cut (Star Entertainment Show), DNA Dancers Ug (Talented Dance Crew), Kapiripiti (Kid Star Challenger), Natacha Burundi (New Talent), M Scan (Start Up of the year) n’abalala.

 ina oz ne edie ingdom Nina Roz ne Medie Kingdom.

Caroline Akello Obina omu ku bategesi b’empaka zino eyasoose okwebaza abantu abawagidde empaka zino n’amaanyi yategezezza nti bakiraba nga kyetagisa okuteekawo enteekatee y’okusiima  abavubuka n’okuzaamu maanyi okusobola okukola ennyo n’okutuukiriza ebirooto byabwe kwe kutandikawo empaka zino era omwaka ogujja azisuubira okweyongeramu ebbugumu.

 ba  dancers Aba DNA dancers

 

 apiripiti Kapiripiti

 

 aroline kello binaku ddyo nga akwasa omuwanguzi engule Caroline Akello Obina(ku ddyo) nga akwasa omuwanguzi engule

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...