TOP

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2019

Pulezidenti ayimirizza omusolo gw’amayumba

Mub1 703x422

Joseph Kasasira omu ku bassentebe abeetabye mu musomo ogwategekeddwa KCCA ku musolo gw’amayumba ng’annyonnyola bye bayitamu.

PULEZIDENTI Museveni ayimirizza omusolo gw’amayumba ogumaze ebbanga nga gwogeza abantu naddala bannannyini mayumba ebisongovu. Ekiragiro ekiwera omusolo guno yakiyisizza mu bbaluwa gye yawandiikidde minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Tom Butime ng’amulagira okuguyimiriza.

Ebbaluwa yagiwandiise nga November 28, 2019. Mu bbaluwa, Pulezidenti yategeezezza nti azze afuna amawulire nti disitulikiti zibadde zisolooza omusolo gw’ebizimbe bino mu bubuga obutali bumu gwa bitundu 8 ku buli 100 n’agamba nti kino kirina okukoma mbagirawo kuba abantu abalina ebizimbe ebipangisibwa bakyali batono ddala era basaana okuweebwa omukisa okulekebwa bakulaakulanye bizinensi zaabwe awatali kutaataganyizibwa.

Yagambye nti balina okulinda waakiri ekitundu ekyo ne kikulaakulana okutuuka ku mutindo gwa Town Council oba Munisipaali olwo eby’omusolo guno biryoke birowoozebweko.

Yalabudde ne minisitule ya gavumenti ezeebitundu okukendeeza ku kupapirira okutondawo Town councils ne Munisipalite ennyingi nti zijja kuba nzibu okuziyimirizaawo.

Yawabudde nti ensimbi entono eziriwo kazikozesebwe ku bintu ebikwata ku bantu obutereevu omuli enguudo, amasannyalaze, amasomero n’amalwaliro. Yalabudde ababadde basolooza omusolo guno okukikomya mbagirawo okwewala okukaluubiriza Bannayuganda abali mu lutalo lw’okweggya mu bwavu ate okubazza mu misolo egitaliimu.

Ebbaluwa yagiweerezzaako omumyuka wa Pulezidenti, Sipiika wa Palamenti, Ssaabaminisita, baminisita, ababaka ba palamenti ne bassentebe ba disitulikiti. Ekiragiro kya Pulezidenti okuyimiriza omusolo we kijjidde ng’abantu bangi beemulugunya ku musolo guno olw’obutagutegeera n’okubanyigiriza.

Abaasembyeyo baabadde batuuze ba mu muluka gw’e Kansanga mu Munisipaali y’e Makindye wano mu Kampala.

Baavudde mu mbeera ne batabukira bakkansala baabwe ababakiikirira mu KCCA okwabadde Stephen Mugagga owa Kansanga B ne Diriisa Tebandeke owa Kansanga A nga balumiriza okwetumiikiriza okuyisa ennongoosereza mu tteeka erikwata ku musolo gw’amayumba nga tebabeebuuzizzaako.

Baabadde mu musomo ogwakoleddwa ekitongole kya KCCA okubasomesa ku musolo gw’aymaumba gwe baludde nga beemulugunyaako nti gubanyigiriza.

Abatuuze bagamba nti KCCA yabagerekera omusolo menene ogw’ebitundu 6 ku buli 100 nga bagamba abakulembeze baabwe be baasindika mu KCCA baali bateekwa okusooka okuddayo okubeebuuzaako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe

Kab19 220x290

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Bakubye owa LDU mu kafiyu

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...