TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

By Musasi wa Bukedde

Added 8th December 2019

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Tip11 703x422

Obuti obukuma essigiri obulinda okutundibwa.

NGA tusemberedde okumalako omwaka, mmanyi bangi mwalina ebiruubirirwa nga gutandika naye abamu temusobodde kubituukako. Wabula tolina kuba mwennyamivu olw’embeera y’ebyenfuna oba oli awo ekulemesezza kubanga waliwo emirimu gy’osobola okutandikawo ne ssente entono n’okyusa obulamu omwaka ogujja.

Abantu abamu banyooma obukolero obutono naye mwattu buyamba okukusitula. Bw’otunuulira Abachina baatandika na kukola bikwanso, buti bwa mannyo n’ebirala okwo kwe baazimbira okutuuka w’obalabira kati.

Leero nkuleetedde ku bizinensi y’obuti obukuma essigiri, bizinensi eno nnungi kubanga akatale katandikira ku ggwe abukola ne kadda ku muliraanwa wo n’okweyongerayo anti mwenna mukuma essigiri.

Bangi wano okukuma essigiri bakozesa mafuta oba obuveera naye obuveera bwamutawaana eri obulamu bwabwe.

Omukka oguva ku buveera gulwaza amawuggwe n’okuleeta kookolo era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kino kya kikakasa. Ate ku muntu akola bizinensi okugeza okwokya enkoko, ennyama oba emmere endala amafuta gayitamu ne gayingira mu by’okulya ekitta akatale. Mwattu obuti buno bw’enjogerako tebulina bulabe ku bulamu bwa muntu wadde okuvaamu ekisu.

OKUKOLA OBUTI Funa ebikuta by’ebitooke n’obyanika n’oluvannyuma n’obifunamu ensaano, gattamu embuumbu y’embaawo okwo ogattako Micro wax (Tokozesa paraffin wax) oba bee wax ava mu njuki. Wano ojja kwetaaga akuuma ka Moulder akafulumya obuti nga bwekutte bulungi era kano tukatunda emitwalo 25.

Kkiro ya wax gisanuuse mu sseppiki, gattamu kkiro y’empuumbi ne gulaamu 250 ez’ensaano y’ebikuta by’amatooke otabule n’oluvaannyuma osse mu kyuma kifulumye obuti obwo.

Ojja kufulumya obuti mukaaga omulundi gumu nga mu ssaawa emu, ekitegeeza nti essaawa ojja kufulumya obuti 120, nga ojja kufuna saketi 24 nga buli emu ya 1000/- . Buli ssaawa ojja kuba okola emitwalo 24,000/- kyokka obeera otaddemu 10,000/- mu kugula ebikozesebwa.

Ssinga okola essaawa 12 ojja kusigaza 168,000/- ng’amagoba ng’oggyeeko z’otaddemu.

Ekirungi ekirala ekiri wano ojja kusigala ng’okuumye bulungi obulamu bwo. Akatale kagazi kubanga mu bantu abafumba emmere mu butale n’amaka ag’enjawulo ojja kuba obafunamu ensimbi ate ekyuma tekikozesa masannyalaze wadde amafuta.

Bw’omala okubufulumya obuteeka mu buveera bw’ojja okusibisa ne ppaasi kikuyambe okwongera okukekkereza ku ssente z’oteekamu.Uganda.+256 (0) 779 519 652+256 (0) 702 061 652Website: www.profbioresearch.com

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi