TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita eyasuulawo omukyala w'abaana 6 bamukase okui

Paasita eyasuulawo omukyala w'abaana 6 bamukase okui

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

PAASITA eyasuulawo amaka ge ne yeegaana abaana be omukaaga, minisita amuwaliriza okubakebeza endagabutonde.

Papa 703x422

Attunka na paasita eyeegaana abaana Kisakye maama n’abaana be Joshua ne Justine. Wansi mu katono ye Salamuka

Pr. James Herbert Salamuka ow’ekkanisa ya Power of Christ Ministries International esangibwa Masajja mu Kibira B Kazinga yasabiddwa Minisita w’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi okukebeza abaana bonna okuzuula ekituufu oba ddala si babe nga bwe yasooka okutegeeza.

Salamuka kigambibwa nti yafunamu obutakkaanya ne mukyala we, Sarah Kisakye n’atuuka n’okuva mu maka ge n’agenda kyokka nti ekyo tekyamumalira mukyala we bwe yamwesibako ku ky’okulabirira abaana n’amutegeeza nti abaana baamukandira obuyambi si babe ekintu ekyavaako mukyala we okwekubira enduulu mu bamateeka okulaba ng’abaana be bafuna obuyambi obusaanidde okuweebwa.

Kisakye yategeezezza nti ensonga zino yasooka kuzitwala ku poliisi e Katwe wabula nti bwe yalaba nga poliisi ekikwata kasoobo n’asalawo okweyongerayo mu bitongole by’amateeka ebisobola okumuyamba, nga kuno kwaliko, aba Legal Aid Project abayamba okukwasisa amateeka ssaako ne wa Minisita Nakiwala.

Yagambye nti bwe yagenda ewa Minisita Nakiwala, yasalawo okuwandiika ebbaluwa eyita bba yennyonnyoleko ku byali bimwogeddwaako nti kyokka bwe batuuka mu ofiisi, Nakiwala n’asaba Salamuka okutwala abaana bonna ku musaayi basobole okumalawo endoolito z’okubeegaana nti si babe.

Yagasseeko nti Salamuka mu kusooka kino yakikkiriza wabula oluvannyuma lw’okugenda e Wandegeya okumanya omuwendo gwa buli mwana yazuula nga ssente ezigenda okumugibwaako ku baana bonna nnyingi kwe kusalawo okuddukira mu kitongole kya Legal Aid e Ntinda n’akisaba okumukkiriza akebeze omwana omu.

Wabula nti nabo bamusaba agenda wa Minisita amukkirize okukebeerako abaana babiri be yali asinga okwekengera.

Kisakye yagambye nti amaze ebbanga ng’asaba bba okutuukiriza kye yeeyama mu maaso ga minisita n’ategeeza nti aliko n’endagano gye yakolera mu maaso ga Minisita ey’okuwa obuyambi abaana be bwa mitwala 96 era nti mu kakwakkulizo ke yateeka mu ndagano eno ke k’okumuliyirira singa abaana bano ebiva mu musaayi bivaayo nga si babe, Kisakye kye yagambye nti yakikiriza.

Oluvannyuma abaana Joshua Salamuka 7 ne Justine Salamuka 12 baatwaliddwa ku musaayi e Wandegeya.

Kisakye wabula yagambye nti abasawo baabagambye nti ebinaava mu musaayi si byakubaweebwa, wabula baakubitwala butereevu ewa Minisita Nakiwala bategeezebwa ebinaaba bivuddemu. #

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....