TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

By Josephat Sseguya

Added 9th December 2019

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Ju1 703x422

Julie Angume bwe yafaananye ku Introduction Shower ye

JULIE Angume akyusizza erinnya ng’ategeka okwanjula kwe. Kati bamuyita Julie The Heart Beat.

Amannya gaayanjuddwa ku mukolo gwa ‘Intro shower’ ogwaddiridde okwanjula kwe okugenda okubeera e Kiboga ku Lwokuna luno mu maka ga bazaddebe, Ronald Ssemugga ne Mariam Semugga nga kati bagenzi.

Bbaawe Sam Sekajugo yeyamuwadde erya The Heart Beat ng’agamba nti omutima guba gumukuba buli lw’alaba ku Julie.

Omukolo ogwabadde ku Fair Way hotel mu Kampala ku Lwokutaano, gw'amukoleddwa mikwano gye, Qeen Florece, Jamirah Karungi, Princess Amiirah, Ameria Nambala, Sarah Kabenge, Faridah Ndausi n’abalala nga Senga Amidah Namatovu yeyasomesezza eby’ekisenge.

Namatovu yamukubirizza okwagala bbaawe, obutamuswaza, okumuwa buli ky’akulya ate w’akyagalidde, okubeera omuyonjo, obutakkiriza ‘hawusigaalo’ kukola bya mumaka byonna omuli n’okwala obuliri bwa bba n’ebirala.

Julie yatuuse leeti ku mukolo guno olw’abategesi okwagala okugumusuulako nga tategedde kyokka ne besanga nga yabadde agenze ku kisaawe e Ntebe okunona bba eyabadde ava ebweru. Yatuuse ssaawa mukaaga ez’ekiro nga n’abamulinze emmere batandise okugirya. Embaga egenda kubaawo nga 22 December, 2019

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka