TOP
  • Home
  • Amawulire
  • RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube w’okulwanirira ebyobugagga bya disitulikiti

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube w’okulwanirira ebyobugagga bya disitulikiti

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 703x422

Abakungu ba NRM abakulembeddwa RDC Fred Bamwine mu ofiisi ya CAO, James Nkata

Bya Joanita Nakatte

Bannakibiina kya NRM nga bakulembeddwaamu ssentebe waabwe e Mukono, Hajji Twahiir Ssebaggala n’omubaka wa Pulezidenti e  Mukono Fred Bamwine bakubye olukiiko okukakasa ebizze byogerwa ku ky’okutunda ebyobugagga by’ekitebe kya disitulikiti eno n’okubirwanirira.

  red amwine nabakungu abalala nga balambula ekizimbe RDC Fred Bamwine n'abakungu abalala nga balambula ekizimbe omuterekebwa eddagala 

 

Ebimu ku bino kwe kuli ettaka n’ebizimbe ebitudde ku kitebe kya disitulikiti eno era nga bino we bibeereddewo, ng’ ettaka eririko ennyumba z'abasawo lyo  lyatundibwa dda, nga n’ettaka okutudde ekitebe kya disitulikiti eno lyatemebwamu poloti ezisoba mu 43 ezirindiridde okugenda ku katale olwo ekitebe kisigaze yiika ttaano.

Bano baasoose kulambula kizimbe kya gavumenti omuterekebwa eddagala nga kino kyasangiddwa mu mbeera embi era ng’akulira abakozi e Mukono, James Nkata yalagira kibalirirwe bamanye ensimbi ezikigyaamu oluvannyuma kitundibwe.

Eno baasanze tekyaterekebwayo ddagala okuggyako  ebisanduuke ebiweddemu era ng’ekizimbe kyetaaga kuddaabirizibwa.

  amwine ngaliko ensonga zannyonnyola RDC Bamwine ng'aliko ensonga z'annyonnyola

 

Oluvannyuma baayolekedde ew'akulira abakozi e Mukono, James Nkata abannyonnyole lwaki yalagira ekizimbe kibalirirwe ate nga kaliisoliiso yali yawandiika ng’ayimiriza okutunda ebyobugagga bya disitulikiti eno, n’asaba abakungu ba NRM bano okumukkiriza abannyonnyole olwo ne beesogga akafubo akatakkiriziddwaamu bannamawulire.

Bakansala baagambye nti, baayisa ekiteeso eky’okusalamu ekyapa kya disitulikiti oluvannyuma lw’ebbanja okulinnya okutuukira ddala ku bukadde 215 aba Buganda Land Board e Mengo ze babanja era ne beekwasa nti, ebitongole bya gavumenti ebirala nga ofiisi ya RDC, kkooti, NIRA, ekkomera ly’e Kawuga n'ebirala bingi byali tebisasula ssente za bupangisa.

 bookisi enkalu ezitereka eddagala ezaasangiddwa wabweru wekizimbe omuterekebwa eddagala Bbookisi enkalu ezitereka eddagala ezaasangiddwa wabweru w'ekizimbe omuterekebwa eddagala

 

Abamu baateesezza nti, wabeewo n'ebimu ku byobugaga bya disitulikiti ebiba bitundibwa nga lufula y’e Kyetume, ekizimbe omutundirwa eddagala lya gavumenti n’ebirala basobole okusasula amabanja agabali mu bulago n’okumaliriza ekitebe kya disitulikiti eno.

RDC w’e Mukono, Fred Bamwine yagambye nti oluvannyuma lw’okuwandiikira kaliisoliiso wa gavumenti ku byali bigenda mu maaso ku nsonga zino, yaweebwa ekiragiro eky’okwogera n’akulira abakozi ku kitebe kya disitulikti eno, James Nkata obutabaawo kitundibwa kyonna era nga si wa kukkiriza nsonga eno kugenda mu maaso okutuusa nga gavumenti y’ewadde obuyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi