TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baze bwe yayingirira eby'okusamize obufumbo ne busaanawo

Baze bwe yayingirira eby'okusamize obufumbo ne busaanawo

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Yamba 703x422

Nansubuga

Prossy Nansubuga omutuuze w’e Matugga-Kabunza y’omu ku babonaabona olwa bba okutandika ebyokusamira.

Embeera ey’okunyigirizibwa gye yayisibwamu aginyumya bwati; Nafumbiriganwa n’omwami wange mu 1999, wadde tetwali bagagga nnyo wabula obufumbo bwaffe bwalimu emirembe.

Mu 2015 obufumbo bwatandika okutabanguka oluvannyuma lwa baze okugula amayembe.

Buli kiro yazuukunga n’akuma akasigiri n’emisubbaawa mu muzigo wetwali tupangisa ng’agamba nti bajjajja be balina okwota omuliro.

Oluusi twaggulangawo mu ttumbi amadirisa okufuna ku mpewo naye nakyo nga kimuyombya.

Oluvannyuma yadduka nandekera abaana mu muzigo. Nawalirizibwa okumuloopa ku poliisi e Kawempe.

Bano bankwataganya n’ekitongole kya Action aid, abannyamba okumuggyamu ssente z’okuzimba ennyumba mu poloti gye twali twagula.

ENGERI ACTION AID GY’EMUYAMBYE

Bannyamba okunoonya omwami wange ne bamutwala ku poliisi nayo eyamuweereza mu kkooti.

Bannambula buli luvannyuma lw’ebbanga okulaba embeera mwendi. Bansomesezza okubeera omuvumu n’okwekkirizaamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi