TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo baze ne yeecanga ng'awoza kimu 'ewaffe tetuzaala' n'andagira nduggyemu

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo baze ne yeecanga ng'awoza kimu 'ewaffe tetuzaala' n'andagira nduggyemu

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2019

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi wange Steven Ndidde mu 2016.

Laga1 703x422

Ritah Byeganje,

Mu ntandikwa twali tukolagana bulungi, era bwe namugamba nti nfunye olubuto yakisanyukira.

Wabula oluvannyuma yeecanga ng’agamba nti ewaabwe tebazaala n’ahhamba olubuto nduggyemu. Bwe nnagaana, n’agaana okumpa obuyambi.

Yandeka mu nnyumba n’ahhana n’okukuba ku ssimu ye. Bwe nagenda mu ddwalairo bahhamba nti nina abalongo. Ekiseera kyatuuka landiroodi n’angoba mu nnyumba .

Ensonga naziyitiramu mukwano gwange ow’ekibi, eyantwala eri Aba Actionaid e Bwaise.

Ku myezi mukaaga, abasawo mu ddwaaliro e Kawempe bankwatira mu ddwaaliro nga bakizudde nti sijja kusobola kuwanirira lubuto mu mbeera gye nalimu.

Aba Action aid bajja mu ddwaaliro ne bandeetera ssente z’okundabirira, ez’okusasula ennyumba, n’obugoye bw’abaana.

Nga nzadde era baakomawo ne bandeetera ssente z’emmere n’ebyetaago ebirala.

Ebyembi omulongo omu yafa era aba Action aid be baakola ku by’okuziika.

Oluvannyuma bampa kapito wa 1,000,000/- ne ntandikawo bizinensi y’omudaala mwe nzigya ssente ezimbeezaawo n’omwana wange.

EKIRINA OKUKOLEBWA

Alice Iwelo okuva mu kitongole kya Actionaid e Bwaise agamba nti kampeyini y’okumanyisa eggwanga akabi k’obutabanguko yandibadde eteekebwamu amaanyi kuba olumu obuzibu nga buno buva ku butamanya.

Ffe wano obuweereza bwonna bwa bwereere naye olumu tukaluubirizibwa olw’obwetaavu okusukkuluma ku busobozi bwaffe. Mu mateeka tulina okubeera n’omuntu afunye ekizibu okumala ennaku ssatu kyokka olw’embeera abamu tumala nabo ebbanga ddene.

Buli lunaku tufuna emisango gy’obutabanguko mu maka munana. Okuva pulojekiti lwe yatandikibwawo mu 2012, twakakola ku misango 1,386.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka