TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baze yanjiira asidi lwa kumugaana kutunda poloti

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana kutunda poloti

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era bangi bafunye ebinuubule abamu ne bafiirwa obulamu.

Know 703x422

Nakiranda

Bingi ebikoleddwa okulaba ng’obutabanguko buggwaawo naye obwetaavu bukyali bwa maanyi. Lipooti ya poliisi eya 2018, eraga nti emisango 362 gy’abafa nga kiva ku butabanguko mu maka bw’ogeraageranya 361 egya 2017.

Ekitongole kya Actionaid International kyatandikawo pulojekiti eya The Women Gender Based Violence Shelter Project(UK AID) emyaka 20 egiyise ng’emu ku ngeri y’okulwanyisa obutabanguko mu maka. Babudaabuda n’okuyamba abo ababeera bafunye obuzibu.

Kino kikolebwa nga basinziira mu bifo ebyenjawulo 10 ebyateekebwa mu bitundu by’eggwanga okuli; Kumi, Katakwi, Mubende, Kween, Amuru Lira, Gulu ne Kampala (Bwaise).

Ekitongole kya Action aid nakyo kyegasse ku kampeyini y’ennaku 16 ezikuzibwa buli mwaka, ensi yonna mwe yeegattira okulwanyisa okutulugunya abakazi n’abawala.

Kampeyini eno ebeerawo buli November 25 okutuuka nga December 11. Nze Joan Nakiranda 22, mbeera Zirobwe – Kawanga mu Luweero.

Baze yajiira asidi ng’entabwe eva ku by’obugagga bye twali tukoze ; Omusajja ono namuzaalamu abaana basatu oluli n’abalongo. Twabeeranga Sseguku –Katale ku lw’e Ntebe. Yagula poloti ne tutandika n’okuzimbamu ennyumba.

Twagulayo ne poloti endala. Baze yafuna ekirowoozo eky’okwagala okutundako poloti emu nze kye nawakanya.

Oluyombo n’okulwanagana mu maka gaffe byava ku kulemwa okukkiriziganya. Yatandika okusindiikiriza nve mu maka n’agattako okunvuma, okunjooga nga kwatadde n’okusindikira obubaka obundaalika okufuna obuzibu.

Yali akola gwa buzimbi ng’olumu afuna emirimu gya safaali. Nga February 5, omwaka guno, yahhamba nti afunye omulimu ogw’ewala era lwe lunaku lwe banjiira asidi.

Nali mu kinaabiro ekiro, hhenda okuwulira nga ninga gwe bayiiridde omuliro. Nakuba enduulu, baliraanwa ne bantwala mu ddwaaliro e Kiruddu.

Baamukubira essimu okumutegeeza era bbanga ttono yali amaze okutuuka awaka. Yajja mu ddwaaliro okundaba nga ku mikono gye kuliko amabala g’ebiwundu by’omuliro.

Namubuuza ebyali mimwokezza n’ahhamba nti asidi yamuggye ku kyangwe kye nali nkozesezza. Nafuna okwekengera ne ntegeezaako poliisi ne bamukwata.

Oluvannyuma lw’omwezi yayimbulwa ku kakalu ka poliisi nga nkyali mu ddwaaliro, ne poloti n’agitunda.

Oluvannyuma lwa famire okundabirira ne bakoowa, maama yangoba awaka ng’embeera yange tagisobola.

Nafuna muzirakisa eyannyunga ku kitongole kya Actionaid abannyamba okuddamu okuzuukusa fayiro y’omusango gwange.

Ekitongole kya Actionaid kyanzigyayo mu kyalo ne bantwala mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi wamu n’okulabirira abaana bange.

Mu kiseera kino, embeera simbi, bakola ekisoboka okulaba nga nfuna ebyetaago by’obulamu obwabulijo mu budde, bambudabuda wamu n’okulondoola fayiro y’omusango gwange mu kkooti e Mpigi.

Omusango guddamu nga December 23, 2019.

EBIVUDDEKO OBUTABANGUKO OKWEYONGERA

Florence Akol akola n’ekitongole kya Actionaid e Bwaise, agamba nti; ennono zaffe kimu ku bivuddeko embeera okwonooneka mu maka.

Obuwangwa obumu busukulumya obuyinza mu maka, okugeza omusajja alina okusajjalaata.

Ennyombo eziva ku bwavu, abasajja olw’okulemererwa okutuukirizza obuvunaanyizibwa bwabwe, abakyala beekyawa ne bakambuwala, okukozesa ebiragalagala, obuteesihhana, omululu gw’ebyobugagga n’ebirala.

EKIRINA OKUKOLEBWA

Akol agamba nti gavumenti yandibadde essira erissa ku bizibu by’abakyala n’okutumbula embeera z’obuntu nga bw’esoosowaza eby’obukuumi.

Okusomesa obutabanguko kyandiviiridde ddala mu masomero, abayizi ne bava buto nga bamanyi obuzibu bw’okutulugunya abalala.

Abasirikale bonna abakola ku nsonga z’obutabanguko mu maka bandibadde basomesebwa ne bafuna ebisanyiizo n’obukugu okukola ku misango gy’obutabanguko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi