TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

By Lawrence Kizito

Added 10th December 2019

Omulabirizi Mutebi bamujjanjabye ne bamussaako obukwakkulizo

Han1 703x422

Mutebi Hannington ng'alamusa ku bantu mu All Saints Church

Hannington Mutebi omulabirizi omubeezi ow'obulabirizi bwa Kampala  akomyewo okuva e Bungereza gy'amaze ebbanga erikunukkiriza mu mwaka omulamba ng'ajjanjabibwa ekirwadde kya Kansa.

Mutebi yatawalibwa e Bungereza mu mwezi gwa January w'omwaka guno oluvannyuma lw'okukizuula nti alina obulwadde bwa Kansa ow'omumusaayi era abadde ajjanjabibwa mu ddwaliro lya Kings College Hospital.

Dr. Henry Ddungu okuva mu Uganda Cancer Institute yasinzidde ku Kanisa ya All Saints e Nakasero mu kusaba kw'okwebaza olw’obulamu Katonda bw'awadde Bp. Mutebi n’ategeeza nti oluvannyuma lw’Abasawo okukyusa obusomyo bw’Omulabirizi, omubiri tegukyalina busobozi kulya buli mmere okuggyako eyo Abasawo gye baasazeewo.

“Omulabirizi mwewale okumukwata mu ngalo, kubanga singa afuna yinfekisoni yonna obulamu bwe bubeera mu matigga. Abamutegekedde ebijjulo munamusonyiwa kubanga talina kulya buli kimu olw’ensonga nti byalina mu mubiri gwe ssibyebyo eby’obutonde nga kyetaagisa okwegendereza ennyo.” Dr. Ddungu bwe yagambye.

Mu kusaba okwakulembeddwa Ssaabalabirizi omulonde Stephen Kazimba Mugalu, Maama Milly Kisakye Mutebi nga ye mukyala wa Bp. Mutebi, yeebazizza abantu bonna ababadduukiridde nga babawa ensimbi z’obujjanjabi okuva omwaka oguwedde Abasawo bwe baakabatema nti Omulabirizi alina kkansa w’omusaayi.

Ye Omulabirizi Mutebi yategeezezza nti wakati mu bulumi yafuna ekirooto, nga Katonda amugamba nti “luno lutalo lwange, nja kululwana era nduwangule”. “Ndabye Katonda ng’akola ebikuuno mu bulamu bwange”. Bp Mutebi bwe yagambye wakati mu ssanyu.

Ye Ssaabalabirizi omulonde Stephen Kazimba Mugalu, yagambye nti amaanyi ga Katonda gasinga okutegeera kw’Abantu, era okuwonya Bp. Mutebi akikoze okulaga abakkiriza nti alina obuyinza ku bulamu n’okufa.

Okusaba kuno kwetabiddwaako amyuka Gavana wa Banka enkulu Louis Kasekende, Sipiika w’olukiiko lwa Buganda Patrick Luwaga Mugumbule, Gen. Katumba Wamala, Omumyuka wa Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Msgr. Lawrence Ssemusu n’abebitiibwa abalala bangi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...