TOP

Ab’e Kawempe balaajanidde KCCA ku nguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

ABATUUZE b’e Kawempe basabye ekitongole kya KCCA okukola ku nguudo ezirimu ebinnya ze bagamba nti zifuuse mpuku z’ababbi mwe bateegera abantu.

Kola1 703x422

Baagambye nti bateega abantu n’ebidduka mu nguudo ez’ebinnya okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi nga n’abamu bakozesa boodabooda okudduka nga bamaze okubba.

Ezimu ku nguudo ababbi ze baafuula empuku kuliko Musooka Road e Kanyanya, ekkubo eriva ku nkulungo y’e Mulago okuyita mu Katanga, Ssendawula Road erisangibwa mu Kawempe I mu zzooni y’e Kirokole zzooni n’endala.

 

Omu ku batuuze, Julius Ssentume ow’e Kanyanya yategeezezza nti ssinga Gavumenti tesitukiramu kulwanyisa bamenyi b’amateeka, bandifuuka ekizibu mu ggwanga .

Janet Nakayenga ow’e Nammere yagambye nti yabadde ava ku mulimu ssaawa 3:00 ez’ekiro n’asanga abavubuka 4 nga batambula omu n’akuba mmotoka ye ekibaawo ate omulala n’amusikako essimu n’akasawo ne badduka.

 

Mmeeya w’e Kawempe, Emmanuel Sserunjogi yasabye abatuuze okubeera abakakkamu n’agamba nti, enguudo zigenda kukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja kyokka poliisi yo yalumirizza abatuuze okukolaganira wamu n’ababbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...