TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssekukkulu gye siryerabira: Gwe nnali neesunze okugirya naye yammenya omutima

Ssekukkulu gye siryerabira: Gwe nnali neesunze okugirya naye yammenya omutima

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

OMWAKA buli lwe gutandika bangi babeera balowooza ku butya bwe banaagumalako era bwe guba gunaatera okuggwaako.

Wana 703x422

Mirembe

Abasinga batandikirawo okwesunga December 25, anti nga beesunga amanzaali ga ssekukkulu.

Olunaku luno buli muntu alutegeera bubwe era abamu balulinako ebyafaayo mu kulya, abalala mu kwamabala ate abalala mu kkanisa. Abantu ab’enjawulo boogedde ku ngeri gye bategeeramu Ssekukkulu ne bye batasobola kwerabira buli lw’etuuka.

Judith Mirembe 25, ow’e Kyebando ng’akolera ku Ham Grounds mu Kampala, ssekukkulu ya 2012 aginyumya nga lutabaalo mwe baamuwangulira.

“Nneesitula ku Ssekukkulu ne hhenda ew’olulenzi lwange ndufumbireko nga njagala tugirye ffembi. Saayagala kumutegeezaako nti nzija ku olwo.

Nagulayo ku bintu bye twali tugenda okukozesa omwali emmere n’enva n’ebirala kubanga nalinamu obusente bwange.

Ekyammala enviiri ku mutwe kwe kutuukayo nga yakyazizza dda omukazi omulala.

Ebintu bye nnali nguze nabiteeka ku kabalaza ne mbuuza omuwala kye yali akola nga tanziramu wabula okunziimuula.

Nayingira mu nnyumba ne nkwata omulenzi amataayi kyokka olw’o kuba yali musajja, yansinza amaanyi n’ankasuka ebweru bwentyo ne nzira awaka n’ebinuubule byange

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi