TOP

Ab'endagwe mu Lwengo balaajana lwa Kabuyonjo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

Ab'endagwe mu Lwengo balaajana lwa Kabuyonjo

Tip22 703x422

Bya Florence Tumupende

SSENTEBE w'eggombolola y'e Ndagwe mu disitulikiti y'e Lwengo akubidde Pulezidenti Museveni omulanga ayimirize omusimbi gw'agabira abayimbi ne bannakatemba asooke ataase ku batuuze b'omukabuga ke Ndeeba aboolekedde okufa endwadde ezifubutuka mu kaabuyonjo ya Gavumenti eyajjjula nebulwako ayamba.

Kabuyonjo eno ekozesebwa abatuuze abasoba mu 1500 nga kwe kuli n'abasuubuzi abakolera mu katale kano akakazibwako ak'emibuulo nga mukiseera kino tebalina wakulaga beyambisa ensiko eriranyeewo.Yadde nga kaabuyonjo eno yajjula era ebadde ntono ddala bwogerageranya n'omuwendo gw'abantu abagikozesa.

Kazambi atandise okukulukutira mu mayumba g'abantu olw'enkuba efudemba ensangi zino eggukira mu kaabuyonjo eno olwo ne gujabagira ng'ekivundu kisaanikidde akabuga ekivudeko omuwendo gw'abalwadde abakwatibwa embiro n'okusesema okweyongera.

Ensonga eno abavunanyizibwa ku by'obulamu okuli Dr.Godfrey Mutyogoma yatuuka dda mu wofiisi yaabwe nga abatuuze baze balimbibwa nga bwe bagenda okuyambibwa mu mwaka gw'ebyensimbi ogwagwa nga negyebuli kati tezimbibwanga.

Kino abatuuze bagamba nti balabika balekebwa emabega kuba n'ababaka ababakiikirira mu palamenti okuli omubaka Cissy Namujju nomubaka Joseph Muyomba Kasozi tebabafudeeko nga mukiseera kino batya n'okugimenyawo kuba mpaawo magombe gebaza.

Kateebe ategeezeza nti ensonga emukubisiza omulanga eri omukulembeze w'eggwanga  asobedwako ewaka n'emukibira ng'ate ekifo aw'okuzimba kaabuyonjo endala wekiri kuba nga ye omuntu ssekinomu tasobola kugizimbira abatuuze bw'ogerageranya n'emitwalo 30 zafuna ng'omusaala gwa ssentebe ow'eggombolola.

Abafumbi b'emeere n'ecaayi kwossa n'ebyokunywa amaduuka gabwe agasinga obungi baggagala olw'abaguzi abadduka mu kifo kino nga tebalaba nsonga lwaki balya kivundu kyereere ekifubutuka mu kaabuyonjo eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa

Kit1 220x290

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka...

Omuzungu eyasobya ku atanneetuuka akwasizza abazadde