TOP

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye omwana we

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako omutwe n’amutta e Nakasongola attottodde ebyabaddewo n’agamba nti baamulwanidde n’amusinga amaanyi n’alyoka amutemaatema bwe baabadde bava mu ddwaaliro.

Funayo 703x422

Nannyombi gwe battidde omwana.

‘‘Omusajja y’ajja n’atuyitako ng’ayanguwa era saategedde gye yabulidde. Nazzeemu okumwekanga ng’afubutuka mu nsiko n’ejjambiya ng’agamba nti ono omwana gwe njagala.

Twamulwanidde n’ansinza amaanyi n’amutemaatema nga bwenkuba enduulu kyokka nga tewali antaasa kwe kudduka ku poliisi y’e Wabigalo okuloopayo ensonga’’ Nannyonga bwe yagambye. Obutemu bwabadde ku byalo Kyankonwa ne Wabigalo e Nakasongola.

Omusajja ono agambibwa okuba mu myaka ng’abiri nga yasala enviiri eza ‘fulenki kaati’ tekyategeerekese kigendererwa kye era tannakwatibwa.

Ate ye muwala w’omugenzi Adonoziyo Matovu naye eyattiddwa omuzigu agamba nti kitaabwe abadde abeera ne bazzukulu be kyokka omutemu we yatuukidde nga tebaliiwo.

Teopista Kabalokole agamba nti ekyennaku omuzigu we yalumbidde kitaawe Matovu bazzukkulu be tebaabaddewo nga bagenze kuzannya era baagenze okudda nga jjajjaabwe attiddwa.

Abalala abattiddwa kuliko: Judith Adul 33 n’omwana Mesach Mawanda ow’emyaka 10. Omubaka w’e Nakasongola, Noah Wanzala yavumiridde ekikolwa kino n’agamba nti eyakikoze yeetaaga kudda eri Katonda.

Omuduumizi wa poliisi e Nakasongola, Patience Namara agamba nti waliwo abaakwatiddwa bayambeko mu kubuuliriza kuno.

N’ayita abalina kye bamanyi naddala omukyala gwe baasikako omwana Florence Nanyombi ajje yeetegereze abakwate oba mulimu eyamuttidde omwana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi