TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

By Muwanga Kakooza

Added 10th December 2019

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Lop1 703x422

MINISITA w’ebyamawulire ne tekinologiya Frank Tumwebaze ayagala KCCA esseewo obukwakkulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala ng’omuntu alina kusooka kizimbe kiteekamu yintanenti  eryoka emukiriza okukikozesa.

Tumwebaze era agamba nti waliwo etteeka eriri mu kkubo erigenda okukaka minisitule  n’ebitongole bya gavumenti byonna okussa empereza yabyo ku mikutu gya yintanenti abamanyi ebya tekinologiya banguyirwe okumanya ebigenda maaso mu gavument

Agamba nti okweyambisa enkola ya tekinologiya empya kijja kuyamba okulwanyisa enguzi kuba abantu bajja kuba tebakyasobola kusisinkana bakungu mu buntu kubakuba bwama nga babawe enguzi.

Bino yabitegeezezza mu lukung’ana lwa bannamawulire ku kitebe kya minisitule ye bwe yabadde alanga omwoleso gw’ebikolebwa tekinologiya ogutegekeddwa minisitule ye nga gwakubeera ku ttendekero lya Nakawa Institute oc ICT nga December 17. Gwakuggulwawo Pulezidenti Museveni.

Yayise abantu abatalina ekintu kyonna kye bayiiyizza ekyekuusa ku tekinologiya okujja okwolesa Bannayuganda bakimanye era kiggyewo endowooza egemba nti abayiiya bali bweru wa Uganda yokka.

Yategeezezza nti KCCA yetaaga okukaka bannyini bizimbe okussaamu yintanenti era kano kabe kakwakulizo ku muntu yenna ayagala okuzimba nga bwe guli ku masanyalaze,amazzi n’ebirala nga pulaani y’ayagala okuzimba tenayisibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalende1 220x290

Omusaayi guyiyeeyo Rev. Ronald...

REV. Kalende yasoose kwekyusa ng’agamba nti bwe yagenze mu ofiisi ya Minisita Nakiwala Kiyingi, baamukase okukkiriza...

Seb12 220x290

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga...

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

Ac1 220x290

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu...

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Koudjis1 220x290

Abalunzi baakutendekebwa ennunda...

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda...

Tiya1 220x290

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto...

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya...