TOP

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lab1 703x422

Mutebile

BBANKA enkulu etegeezezza nti kimenya mateeka omuntu yenna okuwandiika ku mpapula za ssente oba okussaako obubaka obw’ekika kyonna n’ekunga abantu okutandika okugaana ssente ezibawebwa nga mpandikeko ne ppeeni.

Gavana wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti waliwo abantu abatandise okuwandiika obubaka bw’ebyobufuzi ku mpapula za ssente n’agamba nti kino tekikoma ku kuzonoona mutindo wabula kimenya mateeka.

N’agamba nti bbanka enkulu yokka y’erina obuyinza obw’okusalawo ebissibwa ku ssente sso ssi bantu kuziyuza oba okuziwandiiko n’okuzonoona mu ngeri endala.

Mutebile bino yabitegeezezza mu kiwandiiko kye yafulumizza  n’agamba nti kidiridde ssente okutandika okulabikira ku mikutu gya ‘social media’ nga ziwandiikiddwaako obubaka obutali bumu ekimenya amateeka.

Yagambye nti omuntu akwata ssente empandikeko kyangu okuzifiirwa kuba teziba za mutindo gwe zaakolebwako era abantu basanidde okugaana ssente ezo. N’agamba nti omugaso gwa ssente kusasula muntu aba akoze omulimu oba okumuwebwa olw’ensonga endala sso ssi kuzanyirwako

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalende1 220x290

Omusaayi guyiyeeyo Rev. Ronald...

REV. Kalende yasoose kwekyusa ng’agamba nti bwe yagenze mu ofiisi ya Minisita Nakiwala Kiyingi, baamukase okukkiriza...

Seb12 220x290

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga...

Ssebalamu akoledde muwala we akabaga k'okumala okusoma n'amukubiriza okubeera nga Ham

Ac1 220x290

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu...

Aba Takisi ku Kalerwe bagudde mu lukwe lw'okuwamba stage yaabwe

Koudjis1 220x290

Abalunzi baakutendekebwa ennunda...

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda...

Tiya1 220x290

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto...

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya...