TOP

Freeman ayagala Butebi amuliyirire obukadde 500

By Alice Namutebi

Added 11th December 2019

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula.

Capture 703x422

Freeman agamba nti Butebi takomye kumwonoonera linnya, wabula amuleetedde n’okukola loosi ya bukadde 500 era ayagala kkooti emulagire amuliyirire ssente zino ssaako n’endala, kkooti z’eneesalawo ezigya mu byonna by’ayiseemu.

Butebi baamuloopye ne Jackline Kwarisiima. Kiyimba alumiriza nti Butebi akozessa Kwarisiima okuweereza obubaka mu bantu obumulabisa (Freeman) ng’omubbi.

Freeman Kiyimba, ssentebe w’ekibiiba ekigatta abalina amaduuka mu ppaaka empya ekya M/S New Park lock up owners Association, yagambye nti Butebi azze amwogerako ebigambo ebikyamu ng’abiyisa ku ssimu ya Kwarisiima ne bituuka mu basuubuzi.

Freeman yayise mu balooya ba Kizito Lumu Advocates n’agamba nti ku buvunaanyizibwa obuzze bumuweebwa mu Buganda ne mu kkanisa ne Klezia, abadde musajja mwesigwa era tewali muntu yenna yali avuddeyo n’agamba nti yakumpanya ssente era ebigambo bya Butebi bimwonoonedde erinnya.

Kkooti yayisizza dda ekiragiro ekiragira Butebi ne Kwarisiima okwewozaako ku bibavunaanibwa mu nnaku 15 okuva eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...