TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ensonga lwaki olina okugula amangu ebya Ssekukkulu

Ensonga lwaki olina okugula amangu ebya Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

EBBUGUMU lya Ssekukkulu lyeyongedde okusituka mu Bannakampala, abagula ebintu bwe batandise okujjula mu maduuka ne mu butale obuliwo naddala obutunda engoye.

Kyusa 703x422

twemuluOmuyimbi Carol Nantongo ng’akebera ekiteeteeyi.

Bw’otuuka mu gamu ku maduuka gatimbiddwa amatiribona ekiraga nti Ssekukkulu eyingiddewo.

Wabula abasuubuzi nabo bali mu kulaajana nga bagamba nti abaguzi tebannajjumbira bulungi olw’embeera y’obwavu.

Wadde nga tusemberedde ennaku zino enkulu, ebbeeyi y’ebyamaguzi ebadde tennapaaluuka nnyo nga n’abamu ebintu bakyatunda bbeeyi layisi mu ngeri y’okusikiriza abaguzi.

Kyokka kigambibwa nti kino kya kaseera buseera balindiridde nnaku ezisembayo batandike okweramula nga tewali abakuba ku mukono. Abaagala okugula ebyokwambala n’ebintu ebirala ebyokukozesa ku Ssekukkulu temulinda wiiki ejja.

Engoye, engatto, ebyokutimba, emmere n’ebirala ebikozesebwa mu ggandaalo lya Ssekukkulu biyiiriddwa mu butale n’amaduuka ate ng’ebbeeyi tennaba kulinnyisibwa nnyo.

Omuyimbi Carol Nantongo y’omu ku bakedde okwegulira ku bya Kulisimansi. Twamuguddeko e Kansanga ng’alonda byakwambala ku Ssekukkulu.

“Nze sigula ngoye kubanga lunaku lukulu naye nga bw’omanyi abakadde n’abaana bo baba basuubira okubagulirayo ebipya kye kino kyendiko. Ngulira ku maama ne baganda bange bye banacakaliramu mu ggandaalo lya Kulisimansi.” Nantongo bwe yagambye.

Yategeezezza nti alina bajeti ya kakadde kamu ze yateekateeka okugula engoye n’ebirala eby’okukozesa era kati atandise okusaasaanya.

Bwe yabuuziddwa lwaki akedde okugula ebintu yazzeemu nti; “Ebyange obimanyi, olumu obudde bumbula kati bwe sigula kati nnyinza okulemererwa kubanga mbeera mu kuzunga na bya miziki.”

Ono era agamba nti olw’ebigwa bitalaze ayinza okufuna ebizibu ssente z’okugula ebya Kulisimansi n’azikozesa.

Kale okugula kati yeewala mbeera efaanana nga eno. Yayongeddeko nti “Nakoowa embeera eyakavuyo olaba kati Kampala mu bifo ebimu tayitikamu ate we tunaatuukira wiiki ejja oba nga tuyingidde mu nnaku z’omwezi 20 kinaabeera kitya. Leka nze mbigule nga buikyali sirina galumba kavuyo ka mu kibuga.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...