TOP

Aba Akena balemedde ku Kanyamunyu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

ABOOLUGANDA lw’omugenzi Kenneth Akena agambibwa okuttibwa Mathew Kanyamunyu balemedde ku musango gw’omuntu waabwe okutuusa nga kkooti egumalirizza.

Osobola 703x422

Kanyamunyu agambibwa okutta Akena. Ku ddyo,

Bazze mu bungi ku kkooti enkulu ng’omusango gwa Kanyamunyu gutandika okuwulirwa ekyawalirizza omulamuzi Steven Musoke okuyimiriza emisango gyonna olw’abehhanda ze abaabadde bajjuzza kkooti.

Baagambye nti kkooti ne bw’eba yaakutuula kiro bajja kubaawo okutuusa ng’omulamuzi awadde ensala ye.

Kanyamunyu eggulo yagasimbaganye n’omulamuzi Mubiru oludda oluwaabi ne lutegeeza nti abajulizi bonna beetegefu okumulumiriza.

Omulamuzi Mubiru omusango yaguwadde ennaku ssatu z’agenda okuguwulirako nga January 8, 9 ne 10, 2020.

Kanyamunyu avunaanibwa wamu ne muganzi we Cynthia Munwangari ne muganda we Joseph Kanyamunyu. Oludda oluwaabi lugamba nti Kanyamunyu yakuba 

Akena amasasi asatu mu lubuto ku Lugogo Bypass olw’okukolobola emmotoka ye. Bino byaliwo mu November wa 2016.

Kigambibwa nti olw’okutya abantu okumutuusaako obulabe, Kanyamunyu yaddusa Akena ku ddwaaliro lya Norvik ng’eno gye yafiira ng’amaze okutegeeza abasawo n’abehhanda ze nti Kanyamunyu y’amukubye.

Okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi, Kanyamunyu olwamala okukuba Akena amasasi, bbasitoola n’agiddusa ewa muganda we Joseph Kanyamunyu n’agikweka nga n’okutuusa kati poliisi tegifunanga.

Kanyamunyu yasitudde balooya be okuli MacDusman Kabega, Caleb Alaka ne Evans Ochenge okumuwolereza ate oludda oluwaabi lukiikirirwa looya Jonathan Muwaganya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...