TOP

Maama alaajanira omwana we gwe basse

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe bwe baasanze nga yattibwa ng’ebimu ku bitundu by’omubiri gwe bisuuliddwa okumpi n’oluzzi kwe bakima amazzi.

Jangu 703x422

Ivan Nabasa eyasangiddwa ng’afudde. Ku ddyo, Akulira poliisi Nyangoma ng’agumya Precious Kyokusima maama wa Nabasa eyafudde.

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo
gw’okunoonya omwana wa
mutuuze munnaabwe abadde yabula
wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe
bwe baasanze nga yattibwa
ng’ebimu ku bitundu by’omubiri
gwe bisuuliddwa okumpi n’oluzzi
kwe bakima amazzi.
Omu ku batuuze ye yalabye
ensowera nga zihhonga mu kabira
omuli emiti gya kalittunsi kwe
kusembera alabe. Amaaso yagatuusirizza
ku kawale omwana ke
yalimu we kukoowoola banne, era
baagenze okwetegereza
nga ye mwana era ng’ebitundu
ebisinga tebiriiwo.
Bino byabadde Bukooza e
Nakifuma - Naggalama mu Mukono.
Steven Nabwasi ne Precious
Kyokusima be babadde banoonya
omwana waabwe Ivan Nabasa
ow’omwaka ogumu n’ekitundu
kyokka nga baazudde kitundu kya
mubiri.
Nabwasi yategeezezza nti
mukyala we Kyokusima yagenda
kuyimbula mbuzi nga November
11, 2019, n’alagira muliraanwa we
okumusigalizaako omwana kyokka
yagenda okuva ku ttale muliraanwa
we n’amutegeeza nti omwana
yamugoberedde era okuva olwo
teyaddamu kulabika.
Nabwasi yategeeza ku batuuze
banne ne batandika omuyiggo
nga bali n’abakulembeze b’ekyalo
okuva ku ssaawa 1:00 ey’ekiro
okutuuka ku ssaawa 5:00, kyokka
omwana n’ababula ne basalawo
omuyiggo guddibwemu enkeera.
Joseph Mayobwe, ssentebe
w’ekyalo yagambye nti baddamu
omuyiggo ensonga ne baziyingizaamu
poliisi n’eggulawo omusango
gw’okubula kw’omwana ku
fayiro nnamba SD.12/27/11/2019
n’ekwata abantu basatu bagiyambeko
okunoonya omwana
kyokka n’abula okutuusa olunaku
lw’eggulo lwe
bazzeemu okukuba
olukiiko lw’ekyalo
ne balagira buli
mutuuze okubukeereza
enkokola
bakuhhaanire mu
maka ga Nabwasi
baddemu omuyiggo
gw’omwana nga
bafuuza buli wamu.
BAZUULA EBIMU KU BITUNDU
Omuyiggo guno gwatandise ku
ssaawa 1:00 ey’oku makya kyokka
zaabadde ziwera essaawa 3:00,
abatuuze abaabadde beegabanyizzaamu
ebibinja, ekimu ekyabadde
kikulembeddwa nnaabakyala w’e
kyalo, Annet Nakimuli Lugoloobi,
kwe kusalawo baddeyo ku luzzi
banoonye.
Omu ku batuuze kwe kulengera
ensowera okuliraana oluzzi. Bwe
baasembedde ne balaba ebitundu
by’omubiri gw’omwana.
Okukakasa nti ye mwana gwe
banoonya, baayise abazadde
nabo abaabadde ku muyiggo
ng’amaaso gaatuukidde ku
kawale akamyufu mwe yali
kyokka ng’ebisigala waliwo
katundu ka kawanga k’omutwe
n’embiriizi nga mukaaga
ng’ebitundu ebirala tebirabika.
Ate we baasanze ebisigala
bino tewaabaddewo nsiitaano
wadde ekivundu ekyamaanyi,
ekyalowoozesezza abantu nti
kyandiba nga baaleese buleesi
ebitundu bino ne babisuulawo
okubuzaabuza obujulizi.
Abatuuze balumiriza basawo
baakinnansi okutta omwana.
Beewuunyizza ebisigala
okubisanga ku luzzi bulijjo
kwe bakima amazzi kyokka
babadde tebalina kivundu kye
bawunyirizza wadde okulaba
ku nsowera nga n’omuyiggo
ogwasooka baatuuka mu kifo
kino nga tebalina kye baasangawo.
Bagamba nti n’olunaku omwana
lwe yabula abatuuze baakwata
ekkubo erigenda ku luzzi ate nga
ne maama w’omwana gye yali asibye
embuzi ng’omwana ly’ekkubo
lye yakwata kuba n’ekigiiko kye
yali akutte baakisanga yaakava
awaka naye tebalina kye baazuula.
POLIISI ERINA BEEKUTTE
Omuduumizi wa poliisi, Grace
Nyangoma yagambye
nti waliwo abantu
be baakutte ku nsonga
z’omwana ono okusobola okuzuula
ekituufu ku ngeri gye yabulamu
n’okufa kwe.
Wano w’asiimidde abatuuze
olw’okwekolamu omulimu ne banoonya
omwana wa munnaabwe
okutuusa bwe baazudde ebisigala
bye. Yabasabye nti omutima
Omukazi alaajanira
omwana we gwe basse
omulungi gwe baayolesezza
bagende nagwo mu maaso nga
bawa poliisi amawulire agajja
okubayamba okukwata abeenyigidde
mu ttemu lino.
Yabasuubizza nga bulijjo kye
banaawaayo bwe kijja okuba
ekyekyama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...