TOP

Kkooti egobye omusango gwa Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza ku bwapulezidenti gy'aba awaaba emisango abalamuzi bwe babadde bagoba omusango gwe yatwalayo ng'awakanya obuwaayiro obuli mu 'penal cord' poliisi bw'ekozesa okukwata n’okuvunaana abantu ababeera beekalakaasa.

Fdc21a700517 703x422

Abalamuzi bataano abakulembeddwamu Kenneth Kakuru bagambye nti Besigye bwaba yagaana okukkiriza ebyava mu kkooti ey’okuntiko mu 2016 nti Museveni yawangula akalulu kitegeeza nti yayisaamu kkooti amaaso era kati abalamuzi basobola kumuwuliriza singa abeera alopeddwa sossi ye okuloopa.

Bagambye nti Besigye azze akyogera lunye nti  Museveni entebe y’obwapulezidenti agirimu mu bumenyi bwamateeka ekitegeeza nti kkooti n’abalamuzi Museveni b'azze alonda nabo bye bakola tebiri mu mateeka nga mu mbeera eno Besigye tasobola kujja eri abalamuzi abakola ebitali mu mateeka n'abasaba okuwulira omusango gwe.

Bagaseeko nti Besigye alina kuvunaana gavumenti gyakiririzaamu nti eriwo mu butuufu era mu mateeka naye engeri gyeyerayiza nalonda kabineti ye n’olukiiko olukulu kitegeeza nti gavumenti eriko kati tagikkiririzaamu era tasobola kugivunaana kubaako nsobi yonna gyekola.

Abalamuzi banyonyodde nti okugenda mu maaso n’okuwulira omusango gwa Besigye ng’ate byebakola kuye tebiri mu mateeka kubanga balondebwa pulezidenti atali mu mateeka byonna byebaba basazeewo kubeera kumala budde eri ye era wano webasinzidde okugoba omusango gwe.

Besigye yaloopa omusango guno mu 2011 nga ayagala obutudu 65 ne 66 poliisi bweyeyambisanga okumukwata n’okumuggulako emisango bweyali mu kwekalakaasa kwa walk to work buszibwemu kubanga bukontana n’eddembe ly’okutambula ekyere n’okukola byoba oyagala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata