TOP

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde

By Ponsiano Nsimbi

Added 12th December 2019

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Funsa 703x422

Omugenzi Bp. Ssentongo

Okusinziira ku mukutu gw’olukiiko lw’Abasumba ogwa Uganda Episcopal Confrence omusumba Ssentongo yafiiridde mu ddwaliro lya St. Francis e  Nsambya mu kiro ekyakeeseza Olwokuna .

Fr. Ronald Mayanja akulira eby’amawulire mu ssaza ly'e Masaka yategeezezza nti omusumba aludde ng’atawaanyizibwa obuladdwa bwa sukaali ne puleesa.

Yayongeddeko nti balinda ekiwandiiko ekitongole okuva mu lukiiko lw'abasumba ekinaagobererwa mu nteekateeka z’okukungubaga n’okuziika.

EBYAFAAYO BYE;

Yazaalibwa mu disitulikitiu y'e Kalungu ng’okusoma yakutandikira mu Villa Maria Primary school  gye yava okwegatta ku seminaliyo ento  ey'e Bukalasa, oluvannyuma yeegatta ku Seminaliyo enkulu ey'e Katigondo.

Mu 1957, yeegatta ku Urban University e Roma ,ne yeeyongerayo mu Switzerland ne Germany gye yafunira diguli ey’okubiri mu mateeka g’Eklezia.

Yafuna obusasoroodooti mu  December wa 1963 , n'aweereza mu bifo eby’enjawulo mu ssaza ly'e Masaka.

Yaliko omuwandisi w’omubaka wa Ppaapa ow’ekyama wakati wa 1976 ne 1980, era yakulirako Seminaliyo y'e Bukalasa.

Wakati wa 1981 ne 1988  nga tannalondebwa okubeera omubeezi w’omusumba w'e Masaka mu kiseere ekyo Bp. Adrian Kivumbi Ddungu ye yali ssaabawandiisi w’olukiiko lw’Abasumba olwa Uganda Episcopal Conference.

Omusumba w'e Masaka  Bp. Severus Jjumba   y’omu ku basoroodooti  abaaweeba omugezi Ssentongo obusasoroodoooti mu 1992.

Mu mwaka gwe gumu yalondebwa ng’omusumba w’Essaza ly'e Moroto era bwe yawummula  yasalawo okudda e Masaka mu kigo ky'e Bikira gye yawumulira mu 2014.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi