TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi we obulago n'amutta: Amulesezza ezzadde lya baana 4

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi we obulago n'amutta: Amulesezza ezzadde lya baana 4

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi.

Ye 703x422

Joseph Muchurezi eyasaze mukyala we obulago. Wano yabadde ku mpingu mu ddwaaliro e Mulago. Ku ddyo, Sharon Amutuhaire eyattiddwa

Ettemu lino lyabadde mu Sserwadda Zzooni okuliraana wooteeri ya G One mu Munisipaali y’e Lubaga mu kiro ekyakeesezza Olwokuna.

Eyasse mukyala we ye Joseph Muchurezi nga muvuzi wa bboodabooda nga mukyala we ye Sharon Amutuhairwe nga babadde baakamala emyaka 12 mu bufumbo.

EBYABADDEWO NGA TANNATTIBWA

Landiroodi w’abantu bano, Richard Sserunkuuma yabagobye mu nnyumba ye n’agiggyako n’amabaati ekyabawalirizza okugisengukamu.

Omukyala yakutte abaana n’abatwalira mwannyina omuserikale wa poliisi ayitibwa John Byarugaba asula mu nkambi ya poliisi e Naggulu.

Oluvannyuma Sharon yagenze ne yeewogomako ewa mukwano gwabwe era ng’ono muliraanwa waabwe alabe ekiddako.

Yakubidde mukama wa bba essimu n’amubuulira ekibatuuseeko eby’okubagoba mu nnyumba. Mukama wa bba bwe yazze we yabadde, ne bba yennyini n’ajja ne wabeerawo okutuula mu nsonga era mu kiseera kino, Sharon yalombojjedde mukama wa bba byonna bye bayitamu omuli bba obutabalabirira nga n’abaana tebakyasoma era n’awa n’ekirowoozo nti bwe kiba kyetaagisa, ne ppikippiki bagimuggyeko kuba tebayamba.

Bino byonna byayongedde okunyiiza bba wa Sharon abadde n’obusungu ku mutima okumala ekiseera ng’alumiriza mukazi we nti alina abasajja abalala ate kati ng’amuwulira aleeta ekirowoozo aggyibweko ppikippiki kuba tagyeyambisizza kulabirira maka ge.

ENGERI SHARON GYE YATTIDDWAAMU

Oluvannyuma lwa bino byonna, mukama wa bba wa Sharon yasiibudde n’agenda. Ne nnyini waka bano we baasisinkanye yafulumyeko wabweru okuba ne by’akima mu ffumbiro.

Muchurezi yakozesezza akakisa kano n’abaka ekiso n’akozesa amaanyi n’avumbagira mukyala we n’amusala emimiro n’agikutula era omukazi yagezezzaako okuwoggana ekyawalirizza nnannyini waka eyabadde afulumye wabweru okudda amangu mu nju okulaba ogubadde.

Yabadde ayingira bw’ati, baayisihhanyizza ne Muchurezi ng’afuluma ng’amaze okutta mukazi we .

Mu kiseera kino nnyini waka yalayizza enduulu nga bw’ategeeza abantu nti oyo adduka asse omuntu. Muchurezi baamutaayizza ne bamukwata ne bamukuba ebitagambika.

Nnyini nnyumba bwe yatuuse ku Sharon, yamusanze avaamu omusaayi mungi kwe kumusiba ekigoye mu bulago okugezaako okutaakiriza obulamu bwe. Abantu beekozeemu omulimu ne bayoolayoola Sharon okumutwala mu kalwaliro akaliranyewo.

Omusawo gwe baasanzeeyo, yasumuludde Sharon ekigoye mu bulago kyokka olwamutunuddeko n’ategeeza abaabadde bamututte nti bamwongereyo yabadde tajja kumusobola era amangu ago n’aggalawo eddwaaliro lye.

Poliisi bwe yazze abaserikale ne bakizuula nti Sharon yabadde afudde kwe kussa omulambo ku kabangali okwabadde bba gwe baabadde bamaze okukwata ne babatwala e Mulago kubanga omusajja ono yabadde akubiddwa bubi nnyo ng’ali mu mbeera mbi.

Omu ku bapangisa ku nnyumba y’emu abafumbo bano kwe b’abadde basula, Sarah Nabaggala agamba nti abantu bano babadde bamaze wiiki nnamba nga bali mu kulwanagana nga buli omu alumiriza munne okubaako ebikyamu by’akola.

MUCHUREZI AYOGEDDE EKYAMUSSIZZA MUKAZI WE

Ono eyasangiddwa ku kitanda e Mulago poliisi gyemukuumira nga bw’ajjanjabibwa, yategeezezza nti ekikolwa kino yakikozesezza busungu olwa mukazi we okumujooga ekisusse ng’abadde n’omusajja buli kiseera amukubira essimu ng’ali awaka.

Yalumirizza mukyala we nti kirabika alina bye yamukola kubanga naye abaddenga agezaako okubaako n’abakazi ab’ebbali b’aganza yeesasuze kyokka ng’amaanyi g’ekisajja gamubula nga bino .byonna byamuyitiriddeko ne yeesanga ng’akoze ekikolwa kino.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

OMUSAJJA alumbye mukyala we
ku bugenyi gw’alinamu abaana
bana, n’amusala obulago n’amutta
ng’amulumiriza obwenzi.
Ettemu lino lyabadde mu Sserwadda
Zzooni okuliraana wooteeri
ya G One mu Munisipaali y’e
Lubaga mu kiro ekyakeesezza
Olwokuna.
Eyasse mukyala we ye Joseph
Muchurezi nga muvuzi wa
bboodabooda nga mukyala we
ye Sharon Amutuhairwe nga
babadde baakamala emyaka 12
mu bufumbo.
EBYABADDEWO NGA TANNATTIBWA
Landiroodi w’abantu bano,
Richard Sserunkuuma yabagobye
mu nnyumba ye n’agiggyako
n’amabaati ekyabawalirizza okugisengukamu.
Omukyala yakutte abaana
n’abatwalira mwannyina omuserikale
wa poliisi ayitibwa John
Byarugaba asula mu nkambi ya
poliisi e Naggulu.
Oluvannyuma Sharon yagenze
ne yeewogomako ewa mukwano
gwabwe era ng’ono muliraanwa
waabwe alabe ekiddako. Yakubidde
mukama wa bba essimu
n’amubuulira ekibatuuseeko
eby’okubagoba mu nnyumba.
Mukama wa bba bwe yazze
we yabadde, ne bba yennyini
n’ajja ne wabeerawo okutuula
mu nsonga era mu kiseera kino,
Sharon yalombojjedde mukama
wa bba byonna bye bayitamu
omuli bba obutabalabirira nga
n’abaana tebakyasoma era n’awa
n’ekirowoozo nti bwe kiba kyetaagisa,
ne ppikippiki bagimuggyeko
kuba tebayamba.
Bino byonna byayongedde
okunyiiza bba wa Sharon abadde
n’obusungu ku mutima okumala
ekiseera ng’alumiriza mukazi we
nti alina abasajja abalala ate kati
ng’amuwulira aleeta ekirowoozo
aggyibweko ppikippiki kuba tagyeyambisizza
kulabirira maka ge.
ENGERI SHARON GYE YATTIDDWAAMU
Oluvannyuma lwa bino byonna,
mukama wa bba wa Sharon yasiibudde
n’agenda. Ne nnyini waka
bano we baasisinkanye yafulumyeko
wabweru okuba ne by’akima
mu ffumbiro.
Muchurezi yakozesezza akakisa
kano n’abaka ekiso n’akozesa
amaanyi n’avumbagira mukyala
we n’amusala emimiro n’agikutula
era omukazi yagezezzaako okuwoggana
ekyawalirizza nnannyini
waka eyabadde afulumye wabweru
okudda amangu mu nju okulaba
ogubadde.
Yabadde ayingira bw’ati,
baayisi􀁋􀁋anyizza ne Muchurezi
ng’afuluma ng’amaze okutta
mukazi we . Mu kiseera kino
nnyini waka yalayizza enduulu
nga bw’ategeeza abantu nti oyo
adduka asse omuntu. Muchurezi
baamutaayizza ne bamukwata ne
bamukuba ebitagambika.
Nnyini nnyumba bwe yatuuse
ku Sharon, yamusanze avaamu
omusaayi mungi kwe kumusiba
ekigoye mu bulago okugezaako
okutaakiriza obulamu bwe.
Abantu beekozeemu omulimu
ne bayoolayoola Sharon okumutwala
mu kalwaliro akaliranyewo.
Omusawo gwe baasanzeeyo,
yasumuludde Sharon ekigoye mu
bulago kyokka olwamutunuddeko
n’ategeeza abaabadde bamututte
nti bamwongereyo yabadde tajja
kumusobola era amangu ago
n’aggalawo eddwaaliro lye.
Poliisi bwe yazze abaserikale
ne bakizuula nti Sharon yabadde
afudde kwe kussa omulambo ku
kabangali okwabadde bba gwe
baabadde bamaze okukwata ne
babatwala e Mulago kubanga
omusajja ono yabadde akubiddwa
bubi nnyo ng’ali mu mbeera mbi.
Omu ku bapangisa ku nnyumba
y’emu abafumbo bano kwe
b’abadde basula, Sarah Nabaggala
agamba nti abantu bano babadde
bamaze wiiki nnamba nga bali mu
kulwanagana nga buli omu alumiriza
munne okubaako ebikyamu
by’akola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi