TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Centenary bank etadde ssente mu gabula ssekukkulu solobeza

Centenary bank etadde ssente mu gabula ssekukkulu solobeza

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2019

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba Bukedde Tv n’abawuliriza ba Bukedde Fa ma nga bayita mu kubagabula ebyassava.

Wano 703x422

Ku kkono ye Simon Maseruka, Michael Ssebbowa omumyuka w’omukuhhaanya wa Bukedde (mu ttaayi) addiriddwa Beatrice Lugalambi, Kenneth Oduka, Conrad Kaheru ne Moses Kasasa abakozi ba Vision Group.

Bano bawaddeyo ssente ezigenda okukozesebwa okugula ebyassava ebinaagabibwa. Mu lukuhhaana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza eggulo ku kitebe kya Vision Group nga balangirira enkolagana eno, Beatrice Lugalambi owa Centenary bank yagambye nti “ tusse omukago ne Bukedde famire kubanga bali ku mulamwa gwe gumu naffe ogw’okugabula omuntu owa bulijjo.

Tugenda kuba tutambula ne Bukedde mu bifo eby’enjawulo omuli n’obutale nga tugabula abantu baffe ebirabo omuli ne ssente enkalu.

Ng’ogyeeko okuddamu ebibuuzo, Lugalambi agamba osobola okuwangula ssinga obeera olina akawunta mu Centenary Bank ng’okozesa emikutu gya bank okuli; Cente Mobile, Cente Visa oba Cente agent.

“tulina enteekateeka ya kugabula abantu 2,000 era tugenda kuba tulonda abawanguzi tubawe omukisa okugenda mu dduuka ggaggadde nga supermarket okulonda ebyassava bye baagala mu budde obubaweereddwa,” bwe yagasseeko Ye MichaEl Ssebbowa amyuka Omukuhhaanya wa Bukedde eyasoose okusiima aba Centenary bank okubeegattako, akubirizza abantu okujjumbira okujjuza akakonge akafulumira mu lupapula lwa Bukedde bawangule.

Bukedde olupapula Gula olupapula lwa Bukedde ogende ku muko ogwokubiri ojjuze ku kakonge ebikukwatako okuli amannya go n’ennamba y’essimu.

Oluvannyuma osobola okukawa omutunzi w’amawulire ga Vision Group mu kitundu kyo oba okukaleeta ku kitebe kya Vision Group n’okakwasa abakozi ba kkampuni eno ababeera mu kifo w’otuukira.

Leediyo ya Bukedde Fa Ma Abawuliriza baayo basobola okukeetabamu nga bayita mu kuwuliriza pulogulaamu zaayo ez’enjawulo era abasasi baffe bwe bakusanga ng’otumbudde olwo nga weewanglira.

Ku Bukedde ttivvi; Wano olina okuteekako Bukedde TV ng’erabibwa abantu bangi era abakozi baffe bwe bakusanga ng’owangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...