TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka ssente mu nnaku enkulu

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka ssente mu nnaku enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku enkulu ezisembedde abantu abamanyi okunoonya ssente beenyigira mu bizinensi ez’enjawulo eziyinza okubafunira.

Fanayo 703x422

Nansikombi ng’alaga ebimu ku by’atunda n’okukozesa mu saluuni ye.

Joan Nansikombi ow’e Bulenga agamba nti, yatandika okukola mu 2010 ng’akolera muntu mu kaduuka akatunda engoye e Nalukolongo ng’afuna 10,000/- buli lunaku.

Agamba nti, yafuba okutereka 5,000/- buli lunaku era bwe yaweza 460,000/- yasalawo atandike okwesuubulira engoye ezize n’ebintu ebyokwewunda ng’entandikwa yamumalako 400,000/-.

Alaga bw’azze akulaakulana ne bw’alembeka mu nnaku enkulu ezireka abangi nga bakaaba obwavu so nga ye atandiseewo n’emirimu emirala egivaamu ssente: Okuva lwe natandika okukola emirimu gyange nasalawo okusinga okwenyigira mu bizinensi ey’ebyokwewunda mwe nsobodde okwenogera ssente.

Akaseera kano kabeera ka mugano nga nkozesa obukodyo obw’enjawulo okufuna ssente mu bakasitoma bange abaabulijjo ate n’abapya abajja olwa sizoni.

OBUKODYO BWE NKOZESA

1 Ebintu mbiteekawo mu bungi ne kinsobozesa obutasanga buzibu bwa bbula lya byenkozesa nga nkola ku bakasitoma bange okutangira okubagoba oba obutandeetera bakasitoma balala.

2 Nfuba okulaba nga ntuuka ku buli kasitoma w’abeera ne bw’abeera tasobodde kutuuka we nkolera. Bano bankubira ne mbasanga awaka ate nga seeganyizza ne kinsobozesa okukuuma obwesige gye bali ne bandeetera ne bakasitoma.

3 Obuteeganya mirimu gibeera gimpeereddwa bakasitoma bange nga nfuba okulaba nga ngimaliriza mu kiseera ekisaanidde.

4 Okuyisa obulungi bakasitoma bange nga nkitwala nti, kasitoma wange mu kiseera ekyo abeera mukama wange era nga nkola buli kimu mu kiseera kyakyo.

5 Okukola emikwano mu bitundu eby’enjawulo nga kino kinnyambye okusobola okumanyisa emirimu gyange mu bantu ab’enjawulo era mu bitundu ebiwerako. Mu kiseera nga kino kiyamba abantu okumanya emirimu gye nkola abamu ne bannoonya okungulako.

6 Nteekawo ebintu ebikwatagana n’emirimu gye nkolamu, kati bwe mba nkola ku kwewunda kw’abakyala nfuba okulaba nga nsiba enviiri ne ntunda engoye nga kw’otadde n’engatto ne kisobola okusikiriza kasitoma obutasobola kugenda kugula kintu kyonna wantu walala wabula n’akigula ewange.

EMIRIMU GYE NKOLA

l Okusiba enviiri nga ebiviiri mbyesuubulira mu Kampala ku ssente entono ne nsiba kasitoma okuva ku 20,000/- okusinziira ku musono gw’ayagala. Mu biseera bino abantu babeera ne ssente era bangi basiba enviiri okulabika obulungi ate tebakaluubiriza ku ssente z’obasaba. Era amagoba nfuna okuva ku 5,000/- n’okweyongerayo ku buli muntu gwe mbeera nkozeeko.

l Okwewunda kw’abakyala ku 5,000/- ne 10,000/- ng’ebiseera nga bino eby’ennaku enkulu kufuna kubanga abakyala babeera tebeetaagirako ddala kusiiwuuka era eby’okwekolako bibeera ku katale.

l Okutunga, nga kasitoma bw’abeera ayagadde kuddaabiriza lugoye lwe mbeera nsobola okukikolako okutandikira ku 1,000/- okudda waggulu ezo ssente ne zitampitako.

l Ebyokulya ku caayi ku makya ebijjumbirwa bakasitoma okuli emberenge ne cipusi nabyo mbikola.

Okutondawo omulimu ne nsobola okwekozesa ne nneeyimirizaawo. l Okuweerera abaana bange era nga mbalabirira bulungi. l Nkoze emikwano egy’enjawulo mu mulimu guno ne kinsobozesa n'okufuna bakasitoma.

EBISOOMOOZA MU NNAKU ENKULU

1 Okuvuganya okutali kulungi mu biseera bino nga buli omu y’ayagala okutunda ekikye n’atuuka n’okukufiiriza bakasitoma bo.

2 Okwongeza ssente mu bintu bye tugula okukozesa olw’okubeera ng’akaseera ka nnaku nkulu ekireetawo enkyukakyuka y’ebintu bye nkozesa ate nga bakasitoma si beetegefu kwongera ku ssente ze basasula. Bw’oyongeramu nga bagamba obabba ate abamu bwe bakuvaako okubazza kibeera kizibu.

3 Ebisale by’entambula nabyo bikyuka mu kaseera kano ate ne watabeera kyakukola olw’okuba obeera oyagala okutuuka gy’ogenda.

EBIRUUBIRIRWA

Okubeera n’edduuka eddene nga lisuubuza abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo mu ggwanga. Okuyamba abantu ab’enjawulo nabo basobole okufuna ku mirimu. Okugaziya okufuna amatabi ag’enjawulo mu bitundu ebitali bimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’