TOP

Obwavu buswaza - Katikkiro Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 13th December 2019

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obwavu kye kintu ekisinga okuswaza n’okuweebuula ekitiibwa ky’Abaganda ku mulembe guno.

Kolamu 703x422

Minisita w’ebyobulimi e Mmengo Kakomo ( ku ddyo) ng’anyonnyola Katikkiro Mayiga (amuddiridde). Ku kkono ye Magala omwami atwala essaza ly’e Butambala.

Bino yabyogeredde ku mbuga y’eggombolola Ssabawaali Bulo mu ssaza ly’e Butambala nga December 10, 2019.

Yagambye nti kino kiteekwa okumalibwawo bunnambiro ng’abantu beekwata empisa y’okukola obutaweera n’okwenyigira mu mirimu Buganda gy’erinako enkizo ng’okulima emmwaanyi. “Tetwagala Buganda 

ejoogebwe. Muyimba nti ekitiibwa kya Buganda kyava dda, munaakikuuma mutya nga temulina wadde ekikumi mu nsawo?

Bakuwa batya 10,000/- n’olonda omuntu gw’otoyagala. Okwo kwe kutujooga nze nga Katikkiro wa Buganda kwe ssaagala kulaba! bannange twerwaneko,” Katikkiro Mayiga bwe yakubirizza abantu.

Yasabye Abaganda okwebeereramu nga beekolera emirimu gyabywe basobole okuzza Buganda ku ntikko. Yabadde ku kyalo Kifampa ew’omulimi w’emmwaanyi ehhanda, Leonardo Lukyamuzi.

Yagambye nti obumu ku bunafu obuli mu Africa bwe butaddaabiriza mirimu gitandikiddwa wabula okulinda ekintu kimale okuggwaawo baddaabirize ebyonoonese.

Katikkiro yasabye abaami ba Kabaka n’abo abalina obuvunaanyizibwa okubeeranga ekyokulabirako nga minisita omubeezi ow’ebyobulimi e Mmengo, Hajji Amisi Kakomo bw’akola.

Ku Butawuka alinako ffaamu y’emmwaanyi eya yiika ezisoba 23, olusuku olusoba mu yiika 10 n’ebirala. Minisita atwala ettaka, ebyobulimi ne bulungibwansi, Hajjati Mariam Mayanja yategeezezza ng’Obwakabaka bwe bwamalirizza okuwandiisa kkampuni eyitibwa Mmwaanyi Terimba Ltd ng’eno egenda kugula emmwaanyi ezirimiddwa abantu.

Yeebazizza Katikkiro olw’okukubiriza buli ssaza okufuna omulimisa omukugu ayambe abalimi. Omwami w’essaza lino, Hajji Sulaiman Magala yategeezezza nti, abantu b’ekitundu bawulize eri Obwakabaka era baakugenda mu maaso n’okunyiikirira enteekateeka zaabwe.

Omukolo guno gwe gwakomekkerezza omwaka gw’emmwanyi 2019. Okulambula emmwaanyi kwetabiddwaako bannabyabufuzi omwabadde Muwanga Kivumbi, Lydia Mirembe, Bavekuno Kyeswa nga ye Ssentebe wa disitulikiti y’e Butambala, Aisha Kabanda, Rashidah Namboowa, Ibrahim Batemyetto n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi