TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Kirumira afunye ku buwerero! Asekera mu kikonde

Omugagga Kirumira afunye ku buwerero! Asekera mu kikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

Omugagga Kirumira asekera!!

Images 703x422

Omugagga Kirumira

Kino kiddiridde Minisita w'obutebenkevu Gen. Elly Tumwine okukunya Lt Gen Charles Angina n'abapoliisi ababadde bawadde abazimbi obukuumi nga tulakita egaziya ekkubo erigenda ewa Dr. Khingi agugulana ne Kirumira ku ttaka n'abalagira okukomya okusenda ettaka mbagirawo!

Tumwine abadde omukambwe ayombesezza Angina n'abapoliisi ababaddewo na'abalagira okukomya mbagirawo okusenda ettaka n'okweyambisa amagye ne beeyingiza mu busongasonga obutono obwandigonjoddwa mu mirembe awatali kusika muguwa!

Bino abyogedde bw'abuuza Gen. Angina akana n'akataano lwaki baaleese tulakita mu matumbi budde okusenda bwe kiba nga kye baabadde bakola kiri mu mateeka!

Ayongedde okumukunya n'amubuuza ebbaluwa za KCCA ezibalagira okusenda n'agamba nti zino ensonga tezisaana kuleetamu ba magye, KCCA ye yandibadde eteera abaserikale baayo ne bakola ogwabwe so ssi magye!

Kinajjukirwa nti gye buvuddeko abajaasi ba miritale baakuba Kirumira mu lutalo lw’ettaka okuliraana woteeri ya Kirumira eya Hotel International e Muyenga. Kyokka ne Kirumira n’abalwanyisa ng’ali ne mukyala we, Susan Kirumira.

Ebisingawo:

Kirumira bamukubye ne bamwambula engatto

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nrm1 220x290

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa ssentebe wa NRM e Mityana kutandikidde mu ggiya

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...