TOP

Ogwa Abtex ne Bajjo teguwuliddwa

By Martin Ndijjo

Added 13th December 2019

Omusango gwa Abtex ne Bajjo okubagaana okutegeka ebivvulu bya Bobi Wine teguwuliddwa.

Abtex9 703x422

okuva ku kkono: Abtex, Bajjo ne Lukwago ku ddyo

Abategesi b’ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Productions ne Andy Mukasa owa Bajjo Events wamu ne munnamateeka waabwe Loodi Meeya Erias Lukwago bavudde ku kkooti nga banyiivu olw’omulamuzi abadde alina okuwulira omusango gwe baloopa okubagaana okutegeka ebivvulu bya Bobi Wine obutalabikako.

Enkya ya leero bano bakedde ku kkooti nga basuubira omusango gwabwe okuwulirwa kyokka basobeddwa bwe bakabatemye nti omulamuzi Lydia Mugambe aguli mu mitambo taliwo.

Mu mwezi gwa May omwaka guno ababiri bano batwala omudduumizi wa poliisi ne ssaabawolereza wa gavumenti mu kkooti nga babalanga okubagaana okutegeka bivvulu bya Bobi ebya ‘kyalenga extra’ e Busaabala ku One Love Beach,  Lira, Gulu ne Arua.

Mu mpaaba yaabwe bawakanya ekya poliisi okusazaamu ebivvulu bye baali bategese n’okugaana Bobi Wine okuyimba nga bagamba byakolebwa mu bukyamu era bafirizibwa ssente nnyingi.

Ng’ayogerako ne bannamawulire Loodi meeya agambye nti “kyanaku nnyo era kinyiga okulaba nga omusango ogwaleetebwa mu May n’okutuusa kati teguwuulirwa ate nga abantu be ssemateeka abawa eddembe okukola nga abategesi b’ebivvulu ne Bobi Wine okukola nga omuyimbi naye bagaanibwa.”

Ye Bajjo ategeezezza nga bwe bali mu loosi kubanga mu kiseera kino nga beetegekera eganddaalo lya ssekukkulu basuubira okukola ku ssente naye kyokka kkooti tenaba kukola ku nsonga yabwe

Ate ye Abtex agambye nti oluvannyuma lwa palamenti gye basooka okutabayamba esuubi babadde balilina mu kkooti naye okusinzira ku mbeera eriwo tebasuubira kufuna bwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’