TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. yaakweddiza obuyinza bw’ekisaawe ky’e Nakivubo

Gavt. yaakweddiza obuyinza bw’ekisaawe ky’e Nakivubo

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

GAVUMENTI egenda kukyusa etteeka erifuga ekisaawe ky’e Nakivubo, ababadde bakiddukanya baggyibweko obuyinza bw’okukitunda oba okukigabako liizi bwe babadde nabwo mu tteeka eririwo.

Aaaaaaabigjpg703422 703x422

Okusinziira ku akola nga omwogezi wa gavumenti, Dennis Katungi enkyukakyuka zino zireeteddwa n’okwongera okunyweza enzirukanya y’ekisaawe kino kisobole okuzimbibwa n’okukikulaakulanya obulungi kituukane n’omutindo gw’ebisaawe ebirala ebiri mu nsi yonna.   

Ekisaawe kino kikulaakulanyizibwa omusuubuzi Hajji Hamis 

Kiggundu amanyiddwa nga Ham eyazimbako amaduuka okukyetooloola ng’ate wakati ategeka kukizimba mu ngeri ey’omulembe.   

Baminisita baagala kukyusa tteeka erimanyiddwa nga ‘’ Nakivubo War Memorial Stadium Trust Act, 1953’’.   

Era olukiiko lwa baminisita lwasazeewo emikolo gy’okukuza olunaku gavumenti eno lwe yajja mu buyinza olubaawo January 26 gibeere ku Ibanda Core PTC e Ibanda mu Ankole.

Era Uganda yawangudde n’eby’okutegeka olukuhhaana lwa siriimu n’endwadde z’obukaba ICASA 2021 olunaabaawo wakati wa December 6 –December 11 ,2021.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’