TOP

Tamale Mirundi mulwadde muyi

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2019

OMUWABUZI wa Pulezidenti ku nsonga z’ebyamawulire Joseph Tamale Mirundi muyi. Famire ye emaze wiiki nnamba ng’emujjanjabira mu ddwaaliro ly’e Kisubi ku lw’e Ntebe naye basazeewo okumwongerayo e Nairobi mu Kenya okufuna obujjanjabi obusingawo.

Aaaaaabig703422 703x422

Mirundi

Famire ng’ekolera ku biragiro bya Mirundi, baagaanyi omuntu yenna okumukyalira wadde mikwano gye egy’oku mwanjo nga ne mu famire mwennyini mulimu bantu babale abakkirizibwa okumulabako.

Mutabani we omukulu akola mu Palamenti ayitibwa John Tamale y’akulembeddemu banne okulaba nga kitaabwe bamwongerayo okufuna obujjanjabi obw’ekikugu.

Ku Lwokuna akawungeezi ffamire yabadde mu lukiiko okusala amagezi okutwala kitaabwe e Nairobi ayongere okujjanjabwa.

Kigambibwa nti famire ya Mirundi eriko abakungu mu maka g’obwapulezidenti beekolagana nabo okufunayo ku nsimbi z’obujjanjabi obutuufu. We twagendedde mu kyapa, kyabadde tekinnakakasibwa oba Mirundi yafunye obuyambi obwo.

Don Wannyama omuwandiisi wa Pulezidenti ow’ekyama yategeezezza nti ensonga za Mirundi tezigwa mu buvunaanyizibwa bwe n’atujuliza minisita akola ku nsonga z’obwapulezidenti Esther Mbayo.

Ono teyafunyise  oluvannyuma lw’obutakwata ssimu. Mirundi amaze ebbanga ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’amabwa g’omu lubuto (Ulcers) kyokka abadde atereera n’addamu n’akola. 

Emirimu gya Tamale eyeeyita ‘Media Consultant’   eyeebuuzibwa ku by’amawulire, mulimu okwogera ku byobufuzi.

Kino akikola ku leediyo ezitali zimu okuli Metro FM gy’abeera ku Lwokuna ekiro, Impact FM ku Lwokutaano ku makya, Top Radio ku Mmande akawungeezi, NBS TV ku Lwokubiri ku makya, ABS TV eya Paasita Augustine Yiga gy’abeera ku Lwokuna ku makya.

Tamale amaze wiiki bbiri nga talabika ku mikutu egyo era abamu ku bakulira emikutu egyo n’abakyaza Mirundi baatutegeezezza nti kituufu mugonvugonvu era y’ensonga lwaki abadde takyalabika.

Kazibwe Bashir ng’ono y’akyamukyaza ku Pulogulaamu ya ‘One on One’ ku NBS buli Lwakubiri yategeezezza nti abali ku lusegere lwa Mirundi baategeeza nti aliko gy’alaze naye ajja kudda mangu.

.....................................................................................................................

Tamale Mirundi yeekoze obusolo mu bbaala
Tamale Mirundi bamututte Kenya kumujjanjaba
Tamale Mirundi azzeemu okusiiwuuka empisa n'agwa omukubiriza wa pulogulaamu mu malaka

Omwogezi wa kkampuni ya Next Media ng’eno y’etwala NBS, ayitibwa Desire Derekford Mugumisa yategeezezza nti kituufu Mirundi mulwadde naye obulwadde bwe tebweraliikiriza era basuubira nti ajja kubaawo ku Lwokubiri olujja kuba ajja kuba ateredde.

Yayongeddeko nti okusooka beekanzeemu nga Mirundi abakubidde nti mulwadde kuba ekyo kibadde tekibangawo naye oluvannyuma ye n’abagumya nti ajja kutereera  mu bbanga ttono. 

Ku Lwokubiri oluwedde nga December 10, 2019, aba NBS bazzizzaako pulogulaamu nkadde eyakolebwa nga December 3, 2019.

Steven Danstan Busuulwa ng’ono ye maneja wa Top Radio era amukyaza buli Mmande akawungeezi yategeezezza nti, Mirundi yamulinda naye teyalabikako ku Mmande nga bwe kibadde bulijjo naye asuubira nti ajja kukomawo mangu.

Buli Lwakuna ekiro Mirundi abadde abeera ku Radio ya Metro FM naye ku Lwokuna lwa wiiki eno teyabaddeko ssaako n’omuweereza waayo Innocent Eria Bbanda era baakubyewo nnyimba okutuusa pulogulaamu okuggwa.

Richard Gyagenda Semakula amukyaza ku Impack FM ey’omusumba Serwadda buli Lwakutaano ku makya yasoose kugamba nti ku Lwokutaano oluwedde nga December 6, 2019 yamukyaza kyokka ne kizuulibwa nti teyabaddeko.

Ate ku Lwokutaano lwa wiiki eno nga December 13, 2019 era Mirundi teyabaddeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...