TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

By Stephen Mayamba

Added 15th December 2019

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Sub1 703x422

Allan Okello nga bamukwasizza emmotoka ekirabo ky'omuzannyi asinze anne omwaka guno

SSITA wa KCCA FC awonye okulya enfuufu oluvannyuma lw’omuwangula kapyata bwe yalondeddwa ng’omuzannyi w’omwaka 2019.

Allan Okello yamezze munywanyi we Mustafa Kizza bwe bazannyira mu kirabu y’emu ne Bright Anukani owa Proline FC ku ngule y’omuzannyi w’omwaka 2019 omusajja ku mukolo makeke ogwabadde ku Speke Resort Hotel e Munyonyo.

Ku ngule Allan Okello yawanguliddeko emmotoka kapyata ekika kya Subaru Forester nnamba UBG 796G

Ku ya bawala omuteebi wa Kawempe Muslim era kapiteeni wa ttiimu y’eggwanga eyabawala abali wansi w’emyaka 17 Juliet Nalukenge  yamezze bane Fauzia Najjemba ne Hasifa Nassuuna ku ngule y’omuzannyi w’omwaka bwatyo naye naweebwa kapyata ekika kya Subaru Forester UBG 998G

 Cranes ya 1978 esiimiddwa;

Uganda Cranes eyatuuka ku fayinolo ya 1978 n’ekubwa Ghana nayo yasiimiddwa era neweebwa ekirabo ekyakwasiidwa abali abazannyi Ashe Mukasa, Abbey Nasur, Paul Ssali ne  Barnabas Mwesiga ababaddewo ku mukolo.

Abawanguzi Abalala mu bujjuvu;

Omuzannyi asinga okwagalwa ebweru; Abdul Lumala

Omuzannyi wa Beach Soccer; Sulaiman Ochero

Omuzannyi omuto; Gavin Kizito   

Omutendesi w’omupiira gw’abakazi; Ayub Khalifa Kiyingi

Presidential award; Majid Musisi

Fair Play; URA FC

Ekibiina/Memba wa FUFA asinga okukola; Uganda Beach Soccer Association

Abawagizi abasinga; Acholi Province

Ttiimu y’abalenzi ey’omwaka; Joel Mutakubwa, Paul Willa, Mustafa Kiiza, John Revita, Halid Lwaliwa, Shafik Kagimu, Viane Sekajjugo, Bright Anukani, Allan Okello, Mike Mutyaba ne Allan Kayiwa

Ttiimu y’abawala ey’omwaka; Daisy Nakaziro, Viola Namuddu, Naziz Florence, Shadia Nankya, Riticia Nabbosa, Marion Amangat, Phiona Nabbumba, Fauzia Najjemba, Juliet Nalukenge, Maureen Kinavoudori ne Hasifa Nassuuna

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.