TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

By Joseph Mutebi

Added 22nd December 2019

Omugagga Moses Kalungi afunye Diguli y'amteeka n'asomooza bagagga banne

Kav1 703x422

Omugagga Moses Kalungi Billgates ng'ali ku kabaga ke akokwekulisa okusoma amateeka

OMUGAGGA Moses alaze essanyu oluvannyuma lw'okumaliriza emisomo gye egy'amateeka ku Yunivasite ya UCU e Mukono.

Omugagga Kalungi yagambye nti wadde mugagga naye yasalawo naddayo n'asoma amateeka. “Nga nkyali muto n'asooka kufuna diguli yange mu by'ekikula ky’abantu e Makerere wabula bwemaze okugaggawala ne nsalawo nzireeyo nkole ne diguli enddala mu mateeka” bwatyo Kalungi bweyategeezezza.

Kati mu kiseera kino omugagga Kalungi munnateeka omujjuvu oluvannyuma lw'okusoma diguli y'amateeka ssaako ku UCU ne Diplama ku LDC emuwa olukusa okugenda mu kkooti okuwoza emisango.

Kalungi yakoze akabaga ako'okwekulisa okusoma akaabadde ku e Lugogo era nga Rema Namakula yabaddewo nnyo n'omwami we Hamza okusanyusa abantu. 

Rema olwayingiddewo yategeezezza nti yali yakoowa ennaku y'abassemyekozo awo weyakwatidde omwami we Dr Hamza n'amulaga abantu n'ategeeza nti ebyo bye bimu ku by'amwagaza Hamza olw'ensonga nti buli wamwagalira abaawo ekintu ecacamudde ennyo abantu olwo enduulu n'evuga.

Mu balala abaabaddewo kwabaddeko eyali amyika ssaabalamuzi wa Uganda Steven Kavuma, Charles Kakumba owa Kakumba Motors, William Kajoba, Kamoga Muhammad n'abalala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana