TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paapa asiimye Cardinal Wamala n'amusabira omukisa gw'Abatume

Paapa asiimye Cardinal Wamala n'amusabira omukisa gw'Abatume

By Ponsiano Nsimbi

Added 22nd December 2019

Paapa asiimye Cardinal Wamala n'amusabira omukisa gw'Abatume

Wam1 703x422

PAAPA Francis asiimye  Kalidinaali Emmanuel Wamala olw’obuweereza obulungi n’obukulembeze n'amusabira omukisa gw’Abatume.

Okusiima kuno kwabadde mu bbaluwa eyasomeddwa omubaka wa Paapa mu Uganda Luing Bianco ku Jubireewo eye myaka 25 egy’Obwakalidinaali.

Mungeri yemu Kalidinaali  yajaguza emyaka ,38 egy’Obwepisikopi,62 egy’Obusaserodooti n’amazaali ag’emyaka 93 ku wooteeri ya Pope mu Ndeeba.

Paapa yatendereza kalidinaali olw’okubeera omuweereza owamazima,omwetoowaze n'amwagaliza obuwangazi.

Emikolo gyatandise nakitambiro kya mmisa ekyakulembeddwamu Ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampla Dr.Cyprian Kizito Lwanga ng’ayambibwako abasumba abalala okwabadde,ssaabasumba Emmanuel Obbo owe Tororo,ssentebe w’olukiiko lw’Abasumba abakatuliko Joseph Anthony Zziwa,omubaka wa Ppaapa Bianco nabalala.

Dr.Lwanga  yatenderezza Kalidinaali olw’obukakkamu bwe n’okwanukula obulungi okuyitibwa kw’omukama .

Ssaabasamba yakwasizza kalidinaali ekizimbe ekyatumbiddwa Cardinal Emmanuel Wamala Complex ng’ekirabo ky’okumukulisa okuweeza emyaka 25 mu buweereza era nga kino kalidinaali yakiguddewo mu butongo nga kino kyazimbiddwa essaza lye Kampala.

Kalidinaali Wamala yebazizza Katonda olwekirabo eky’obulamu n’omukwano abantu gwe bamulaze nadala abalina bye bamukoledde mu bulamu bwe.

Yasimye ssaabasumba Dr.Lwanga olw'okumutegekera akabaga kano akwokwebaza Katonda olw'obulamu bwe n'ebirungi ne'birabo Katonda bye yamuwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...