TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba ekiri ku Mwalo e Kirongo abantu gye bakonkomalidde olw'entambula

Laba ekiri ku Mwalo e Kirongo abantu gye bakonkomalidde olw'entambula

By Henry Nsubuga

Added 23rd December 2019

Laba ekiri ku Mwalo e Kirongo abantu gye bakonkomalidde olw'entambula

Sit11 703x422

Abantu nga bainda ekidyeri ku mwalo e Kirongo

Abasaabaze bayitirivu abakwatiridde ku mwalo gw'e Kirongo mu bizinga by'e Buvuma nga balindiridde ekidyeri okubasaabaza ku nnyanja bagende e Kiyindi mu disitulikiti y'e Buikwe ku lukalu basobole okugenda okulya kkulisimaasi ebulako olunaku lumu lwokka.

Abakwatiddwa e Buvuma mwe muli abasuubuzi b'ebirime abaagala okugenda e Kiyindi mu katale okwenogera ku nsimbi sso ng'ate ab'emmotoka nabo bangi bali eyo tebalina ngeri gye basala kudda ku lukalu.

Entabwe eriwo kwe kuba nti ekidyeri kyokka ekisaaza abantu n'ebintu byabwe kyakedde kufa ne kitasobola kusaabaza bantu kuva ku mwalo gw'e Kiyindi okugenda e Buvuma n'okuvaayo okuddayo. Ekidyeri kino kirina kuva e Kiyindi kumakya ssaawa emu n'ekitundu okugenda e Buvuma naye ng'olwaleero kyasuze kifu nga bakedde kukikanika.

Kino kivudde e Kiyindi ssaawa nga ttaano n'ekitundu ne kituuka e Buvuma ku mwalo e Kirongo ssaawa nga musanvu mu ttuntu.

Eby'embi mu kutikka ebintu omuli emmotoka n'emmere ssaako amannda n'amatooke, bino birekeddwayo e Buvuma ne bannanyinibyo.

alt=''

Ku mmotoka nga 7 ezirina okitikkibwa ku kidyeri, kitisseeko emmotoka 3 zokka okubadde kittuleera ekiwanvu ennyo.

Emmotoka ezisigadde e Buvuma zibadde nga 10 nga n'olw'eggulo ekidyeri tekisuubirwa kuzitikka kuggwawo nga waliwo n'endala eziri mu mirimu ezisuubirwa okuddayo olw'eggulo. Baddereeva b'emmotoka zino balaze okutya nti bandiremererwa n'okusala okudda ku lukalu okulya kulisimaasi.

Bano bagamba nti ekibi kwe kuba nti batisseeko emmere gye basuubira okwengera ssinga entambula ebula.

Bbo abatatambudde na mmotoka balinnya amaato wadde ng'ate gano tegalina 'life jackets' nakyo ekiteeka obulamu bwabwe ku matigga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.