TOP

Mmotoka abasama ze baleese okuliiramu Ssekukkulu

By Martin Ndijjo

Added 23rd December 2019

Baxx ne Derrick balaze ebyuma bye baleese okuliiramu obulamu ne sswaga mu ggandaalo lya ssekukkulu.

Wi 703x422

Baxx ku mmotoka ye kika kya BMW

Mmotoka ez’ebbeeyi zi­fuuka bimuli mu Kampala mu biseera bya Ssekukkulu. Zino ziba zireeteddwa ne ziyiibwa mu kibuga Bannayuganda abakolera ebweru abaakazib­wako erya basama.

Ezisinze okukwata abantu omubabiro z’ezo eziriko amannya gaabwe era abasin­ga okuzireeta bakolera South Afrika.

Mu bayingiddewo era abatandise okujooga ng’enjogera ye nnaku zino kuliko; William Kimbugwe, 28, amanyiddwa nga Baxx ne Derrick Juan .

 errick ayimiridde ku mmotoka ze Derrick ayimiridde ku mmotoka ze.

Baxx asula Buziga ate e South Africa abeera  Sandton  mu Johannesburg. Akola bwa kitunzi era alina ne kkampuni y’ebyobuzimbi mwaggya ssente  zamansa.

Avuga mmotoka kika kya BMW 6 series eriko nnamba puleti mu linnya lya Baxx K4. Agamba yazze kuwumulako na kulya bulamu kubanga amaze ebbanga nga akola era kati tava mu bifo ebisanyukirwamu gy’asuula ne banne nga batiguka.

Bwe yabuuziddwa ku ky’abasama okuvuganya mu kulaga ssente, Baxx yagamba nti tazze kuvuganya na muntu yenna mu bya ssente wabula ye azze kucakala ne bannayuganda abamanyi okulya ensimbi nga bwatambuza ne bizinensize eddala omuli ey'okuzimba amayumba.

Ate ye Derrick Juan akulira ekibiina kya ‘God first’ naye owe Johannesburg atandise okwogeza abantu obwama abamulaba mu mmotoka ez’ebbeeyi zakyusa nga ebikooyi.

Mu mmotoka ze yalesse ‘mwavimbira’ ng’enjogera y’abavubuka kuliko; C220 modal 2018, Audi A5 modal 2015 eyebikula ne Jeep

Agamba nti ng’ogyeko okulya obulamu mu birala byateseteese okukola mulimu kuddukira abo abali mu bwetaavu n’okuyamba bannabitone omuli abasambi b’omupiira n’abayimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka