TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

By Joseph Makumbi

Added 27th December 2019

Laba ekibadde e Kololo nga UPDF ewandiika abaagala okyingira amagye

Ph1 703x422

OBUNGI bw’abantu abeeyiye ku kisaawe e Kololo mu kuwandiika abajaasi abapya mu ggye lya UPDF gutabudde abali ku mulimu guno abamu ne babagoba olw’ebisanyizo.

 

UPDF, yetaaga abajaasi abapya 4,000 era okuwandiika kuno kutandikidde mu Kampala olwaleero ku kisaawe e Kololo kyokka, obungi bw’abaagala okuyingira amagye mu Kampala mwokka katono bwenkane obungi bw’abantu abeetaagibwa mu ggwanga lyonna.

Amyuka omwogezi wa UPDF, Lt. Col. Deo Akiiki Asiimwe mu kiwandiiko kye yawerezza bannamawulire yagambye nti, bagenda kuwandiika okwetoolola eggwanga okuva nga December 27, 2019 okutuuka nga January 5, 2020.

Annyonnyodde nti mu bantu be betaaga mulimu abagenda okwegatta ku UPDF ng’abalwanyi era bano bateekeddwa okuba nga baatuula S4 oba S6 obutakka wansi wa 2016 ate nga baakola amasomo ga saayansi nga bali wakati w’emyaka 18 ne 25 nga balina ddensite z’amasomero gye baatuulira n’ebbaluwa za UNEB.

Abalala abagenda okukola mu bitongole eby’ekikugu mu magye bateekeddwa okubeera ne ddiguli oba dipuloma mu kutabula eddagala, okukanika, abasomesa, abaasoma eby’emikono, abaasoma eby’obulimi, bannamawulire, abaasoma ebya kkompyuta n’ebirala nga bali wakati w’emyaka 18 ne 30.

Agaseeko nti, bateekeddwa okubeera Bannayuganda nga balina ddensite za Uganda, era bateekeddwa okuba nga tebalina birwadde byonna ng’ate beetegefu okukeberebwa.

Bateekeddwa okuba nga si bafumbo era nga tebalina baana, bateekeddwa okubeera ab’empisa nga tebalina musango gwonna nga balina n’ebbaluwa ezibasemba okuva ku LC I, LC II n’ewa GISO.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana