TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Cardinal Wamala bamukoledde akabaga akabuli mwaka

Cardinal Wamala bamukoledde akabaga akabuli mwaka

By Ponsiano Nsimbi

Added 27th December 2019

Cardinal Wamala bamukoledde akabaga akabuli mwaka

Pos1 703x422

KALIDINAALI Emmanuel Wamala bamukoledde akabaga okwebaza Katonda olw'obulamu bwe ssaako n'ebirungi by'akoledde Klezia.

Akabaga kano kabadde  mu maka ge e Nsambya nga kategekeddwa bazzukulu be nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe J.C.Muyingo.

 Mu kwogerako eri abantu abamukoledde akabaga kano ategeezeeza akubirizza bazzukulu be buly'omu okolera munne ebirungi ebiri mu birooto bye.

 

Akabaga kano kategekebwa buli December, nga 27 kaakazibwako erya Kalidinaali Wamala Family Day era nga n'akomulundi guno  k'atandise n'ekitambiro kya mmisa ekyakulembeddwamu omusumba w’e Masaka Severus Jjumba.

Omusumba Jjumba akubirizza bazzukulu ba Kalidinaali okukuuma ekirabo eky’okukkiriza Kalidinaali Wamala kyabasizeemu n’okunywerera ku Katonda ate n’okumuweereza.

Yagambye nti Kalidinaali Wamala musajja wa Katonda alina omutima omulongoofu ffenna gwe tusaanye okuyayaanira.

Ssentebe w ’olukiiko lw’abazzukulu minisita weby’enjigiriza ebya matendekero agawaggulu J.C.Muyingo, asabye abazzukulu okwongera okusabira Kalidinaali n’okwefumiitiriza ku nneeyisa yaabwe n’emmere gye balya nabo basobole okuwangaala nga ye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans