TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti esazizzaamu munisipaali mukaaga n'eragira n'ababaka baazo bave mu Palamenti

Kkooti esazizzaamu munisipaali mukaaga n'eragira n'ababaka baazo bave mu Palamenti

By Kizito Musoke

Added 27th December 2019

Kkooti esazizzaamu munisipaali mukaaga n'eragira n'ababaka baazo bave mu Palamenti

Bas11 703x422

Omubaka Basaalirwa agobeddwa mu palamenti

KKOOTI etaputa Ssemateeka esazizaamu munisipaali mukaaga n’etegeeza nti zaatondebwawo mu bukyamu era n’ababaka abazikiikirira bave mu Palamenti.

Ababaka abasaziddwamu kuliko; Asuman Basalirwa (Bugiri), Dr. Elioda Tumwesigye (Sheema), Hashim Sulaiman (Nebbi) Tarsis Rwaburindore Bishanga (Ibanda), Patrick Ocan (Apac) ne Peter Lokii Abrahams(Kotido).

 Dr. Elioda Tumwesigye 

Akakiiko k’ebyokulonda kalagiddwa mu bbanga lya myezi 10 okuba nga balambuludde bulungi ensalo za konsitityuwensi zonna ng’okulonda okuddako tekunnaba kubaawo.

Abalamuzi abakuliddwa amyuka Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo basazeewo nti akakiiko k’ebyokulonda bwe kaalemererwa okulaga munisipaali zino we zirina okusaliza nga bazitondawo.

Abalamuzi abalala kubaddeko; Kenneth Kakuru, Fredrick Egonda-Ntende, Cheborian Barishaki ne Christopher Madrama.

Eyali omubaka wa Bufumbira East, Eddie Kwizera  ye yaloopa mu kkooti ng’ayagala ababaka abawera 83 basazibwemu ng’agamba nti baalondebwa mu bukyamu. Kkooti yakkirizza kusazaamu mukaaga bokka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...