TOP

Gwe baatumye kudduuka afiiridde mu mwala

By Edward Luyimbazi

Added 29th December 2019

ABATUUZE ba zooni IV e Mutungo bafunye entiisa oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe eyabadde atumye omwana we okumuleetera ebyokulya ku dduuka okugwa mu mwala n’afa mu nkuba eyatonnye ku Lwokuna.

Keep1 703x422

Poliisi ng’eteeka omulambo ku kabangali. Mu katono ye mugenzi Angel

Wilson Lwango,Taata w’omwana Angel Owabashabo, 7 eyafiiridde mu mwala yagambye nti, zaabadde ssaawa 4:00 ez’oku makya n’atuma Owabashabo ne muto we Sanchez Kwizera ku dduuka abagulire ebyokulya by’okunywera ku caayi.

Kyokka baabadde bakyali mu nnyumba, Kwizera n’ajja ng’akaaba n’abategeeza nga Owabashabo bw’agudde mu mwala. Lwango yagambye nti yayanguye okugenda mu kifo we yagwiriddemu kyokka yagenze okutuukawo ng’amazzi gaamututte dda.

Kigambibwa nti Owabashabo okugwa mu mazzi yabadde agezaako kuggyayo ngatto ye kyokka n’asirittuka n’agwa mu mwala.

Eric Ndawula, omu ku baagezezzaako okumutaasa yagambye nti bwe baawulidde amawulire baayanguye okumutaasa naye ne kitasoboka kubanga amazzi gaabadde gamaze okumukulukusa. Baayise poliisi n’etandika okunoonya kyokka ne balemwa okumufuna.

Ku Lwokutaano bazzeemu okumunoonya nga bayambibwako balubbira ba poliisi n’abatuuze.

Ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo baazudde omulambo gwe mu mwala oguli mu kitundu ekimanyiddwa nga Canana okuliraana Kasokoso.

Faisal Sebayiga, kkansala w’omuluka gwa Mutungo 1 yategeezezza nti emyala gy’e Mutungo giri mu mbeera mbi era baategeezaako KCCA naye tennaba kwanukula mulanga gwabwe.

Yakuutidde abazadde okufaaayo okukuuma obulungi abaana baabwe naddala mu kiseera kino eky’enkuba olw’embeera ey’emyala mu kitundu.

Omumyuka w’omwogezi wa Poliisi owa Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti baafunye amawulire g’omwana okugwa mu mazzi ne basindika abaserikale okumunoonya, omulambo gwe ne baguzuula ku Lwokutaano nga December 27, 2019.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...