TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga 10 KCCA z’egenda okussaako essira mu 2020

Ensonga 10 KCCA z’egenda okussaako essira mu 2020

By Hannington Nkalubo

Added 29th December 2019

LOODI Meeya wa Kampala, Erias Lukwago alangiridde ensonga 10 zaagenda okussaako amaanyi mu mwaka 2020.

Funayo1 703x422

Kitaka (ku ddyo), Kaujju (ayimiridde) nga bali mu lukiiko mwe baalangiridde eby’okukola.

Wakati mu kussa enongoosereza mu tteeka lya Kampala, yalabudde nti agenda kwanganga oyo yenna agenda okumusimbira ekkuuli.

Ne dayirekita wa KCCA, Andrew Mubiru Kitaka yalangiridde ebimu ku bikoleddwa mu mwaka oguwedde omuli: enguudo, amataala, oluguudo lwa Namirembe, obutale nga ak’e Kasubi akalindiriddwa okutongozebwa n’ebirala.

Ebigenda okukolebwako mulimu: Bbaasi: Kitaka yatadde nnyo amaanyi ku kutereeza entambula mu Kampala n’agamba nti Gavumenti yasazeewo bbaasi zitandike okutambuza abantu mu 2020 oluvannyuma lw’olukiiko lwa baminisita olukubirizibwa Pulezidenti Museveni okukiyisa.

Ensonga zino kati ziri mu mikono gya Minisita w’emirimu n’entambula, Gen. Edward Katumba Wamala, minisita wa Kampala omubeezi Benny Namugwanya ne KCCA batandike okuziteeka mu nkola.

Yategeezezza nti ekitongole kya Gavumenti ekya ‘Uganda Development Cooperation’ kyakwasibwa obuvunaanyizibwa okutereeza emitendera egigenda okugobererwa kkampuni ya TONDEKA METRO egenda okuziddukanya.

Mu nteekateeka ya bbaasi, TONDEKA METRO egenda kukolagana ne kkampuni ya Ashok Leyland ekola bbaasi okuva e Buyindi ezibaguze ate endala ezireete bazikolere mu Kampala nga Ashok Leyland ekolagana ne kkampuni ya KIIRA Motors mu Kampala.

Bbaasi zisuubirwa okutambuza abasaabaze abasoba mu bukadde bubiri buli lunaku ku ssente eziri wansi .

Kitaka yategeezezza nti bagenda kukola ku luguudo lwa bbaasi ga tekwatibwa bulipagano .

Ebisale bigenda kuba bya kaadi ng’omusaabaze wa ddembe okusasula kaadi y’olunaku, wiiki oba omwezi ng’emutambuza okwawukana ku takisi .

AMATAALA:

Ku by’amataala g’omu Kampala, Lukwago yategeezezza nti KCCA yaweereddwa ensimbi za Bungereza [Euro] 800,000 ebunyise amasannyalaze ga Sola mu Kampala era tayagala kuddamu kulaba ku nzikiza yonna mu kibuga mu mwaka omupya.

Yagasseeko nti n’enteekateeka y’okutereeza enzimba y’ebizimbe n’amayumba mu Kampala egenda kutandikibwa.

Balonze ebifo bitaano naye nga bagenda kutandikira ku bifo bisatu okuli Kololo, Makerere ne Nakasero okwewala omugotteko gw’amayumba.

EMYALA:

Kampala terina pulaani egobererwa okukola emyala. Okukola pulaani kyabalirirwa nga KCCA yetaaga obuwumbi obusoba mu 800 era ayagala omwaka guno asabe palamenti eyise ssente ezo bazibawole emyala gikolebwe.

Ayagala emyala mwenda okuli: Nakivubo omunene, Lubigi, Nakamiro, Kaliddubi, Nalukolongo, Mayanja ne Kansanga zikolebwe.

OKUFUNIRA BANNAKAMPALA EBIFO:

Ayagala obutale obwatandikibwako okuzimbibwa bumalirizibwe abantu bafune we bakolera era akatale k’e Kasubi kagenda kukwasibwa abasuubuzi, ak’e Busega kamalirizibwe, ak’e Kitintale kakolebwe era ayagala KCCA ezimbe n’obutale obulala bubiri okwongera ku bifo abantu we bakolera.

KASASIRO:

Ayagala buli mwaka KCCA egule emmotoka eziyoola kasasiro waakiri ttaano n’ettaka ly’e Ddundu lye baagula likulaakulanyizibwe kakasiro bamulongoseze eyo ate n’ekibuga kyeyongere okuba ekiyonjo nga Bannakampala beewala okusuula kasasiro mu myala.

ENGUUDO

Lukwago yagambye nti Kampala yenna aweza obuwanvu bw’enguudo bwa kirommita 2100 eziriko koolansi kyokka 608 zokka ze ziriko ebifo okutambulirwa ab’ebigere. Ayagala enguudo zeeyongere okukolebwa ne Gavumenti eyongere KCCA ssente ezikola enguudo okusinga ku buwumbi 32 kati ze babawa.

Ayagala Pulaani namutayiika egenda okulaga entambula ey’olukale omuli bbaasi, eggaali y’omuka , obumotoka obuyita waggulu byonna bigenda kutambula bitya mu Kampala.

AMATEEKA

Amateeka mangi agetaagibwa okulung’amya enkola y’emirimu mu Kampala era ayagala gatandike okukola mu mwaka omupya. Mu gano mulimu agafuga kkamera mu Kampala, okusimba mmotoka ku nguudo , okutereeza abatakisi, aba boodabooda, okusimba emiti, okutuuma amanya g’enguudo n’ebirala.

EBYOBULAMU

Ayagala amalwaliro gongere okutereera Bannakampala bajjanjabibwe bulungi. Yagambye nti Kampala teriimu kaabuyonjo zituukagana na mutindo gwa Kampala era asuubira bagenda kuzimba kaabuyonjo Musanvu ziyambeko.

EBYENJIGIRIZA:

Ayagala okutumbula ebyenjigiriza by’abaana naddala ng’amasomero agaliko amabaati ga asbestos gagibwako.

TAKISI

Lukwago yategeezezza nti ayagala abaddukanya takisi bayambibwe okutereeza empeereza yaabwe n’okuzimba paaka zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.