TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Paapa Francis yeetonze ‘okukuba omukazi’

Paapa Francis yeetonze ‘okukuba omukazi’

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2020

PAAPA Francis akozesezza mmisa y’Olusooka omwaka okwetondera omukazi gwe yakubye empi bbiri ng’amulanga omusikaasikanya.

Images1 703x422

Paapa yasinzidde mu mmisa eyabadde mu kibangirizi kya St. Peters Square e Vatican n’ategeeza nti yeetonda olw’ekikolwa ky’obusungu kye yakoze.

Yayongedde nti yalaze ekyokulabirako kibi era abakyala okufaanana n’abantu abalala balina okuyisibwa mu ngeri eyeekitiibwa.

Paapa Francis akulira Obukatoliki mu nsi yonna obuwezaamu abakkiriza abasoba mu buwumbi bubiri mu nsi yonna yatabuse ku Lwokubiri lwa wiiki eno.

Yabadde ayita mu kibangirizi kya St. Peters’s Square nga musanyufu ddala ng’agenda abuuza ku baana n’abalamazi abakwatirira mu kifo kino okulaba ku Paapa, okulambula n’okusaba.

Paapa yabadde ayolekedde mu kifo ekiyitibwa ‘Scene of Nativity’ wakati mu Vatican.

Abaana n’abalamazi obwedda abakwata mu ngalo nga bw’abawa omukisa.

Yabadde amaliriza okweyongerayo omukazi n’amubaka omukono ng’akozesa amaanyi n’amusika n’amukomyawo ayongere okubabuzaako ate n’amulemera mu kibatu.

Kino kyanyiizizza Paapa n’amukuba empi bbiri entonotono ku mukono n’amuta ne yeeyongerayo.

Waliwo abaakutte ka vidiyo kano ne kasaasaanyizibwa era kigambibwa nti kaakoze ebyafaayo ng’akakyasinze okusaasaana mu byafaayo bya ‘social media’.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknmu21 220x290

Ababadde batwala omulambo batuuyanye...

Abatuuze ku kyalo Nassuuti mu munisipaaali y’e Mukono baasitaanye okufuna ebiwandiiko ebitambuza omulambo gwa munnaabwe...

1bc8d9398e5f4a07a3307fdfeb1d90ad 220x290

Kasujja omukulu w'ekika ky'Engeye...

OMUTAKA Hajj Mohamood Minge Kibirige Kasujja abadde akulira ekika ky’engeye obulwadde bwa sukaali ne puleesa bimugye...

Mkncov11 220x290

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira...

Ab’e Mukono batandise ekifo aw’okukuumira abateeberezebwa okuba ne Coronavirus

414009d1dd2349e0bd6b4678886a42d21 220x290

Kabaka awaddeyo obukadde 100 okuyamba...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II addukiridde Bannayuganda n’obuyambi obw’enjawulo obubalirirwa obukadde 100 ng’ensimbi...

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi