TOP

Bawambye omwana ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2020

Ibrahim Kafeero olumu eyeeyita Brian 30, yataasiddwa poliisi y’e Njeru eyamukutte wakati mu kubwatuka kw’amasasi.

Nkitadde1 703x422

Kigambibwa nti, nga December 31, 2019, yateeze omwana Faridah Mbabazi 9, eyabadde agenda okugula butto n’amusobyako oluvannyuma n’amutuga n’amutta.

Nnyina wa Mbabazi, Rehema Batuuka yagambye nti, ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’emisana ku Lwokubiri, yawadde muwala we 500/- aguleko butto wa 200/- n’obutungulu bwa 100/- asiike enva z’eky’emisana kyokka yalabye omwana takomawo, kwe kwesitula agende ku mudaala abyewole.

Yagambye nti, bwe yabadde atambula ng’atuuse mu kkoona awaziyivuzivu, yalabye akamu ku bugatto bwa muwala we omutima ne gumukuba.

Agamba nti, yatambudde n’ayingira mu kasiko we yalabidde olugoye lwa muwala we era yagenze okusembera amaaso yagakubye ku mulambo.

Agamba nti yawunze n’atema omulanga omwabadde n’enduulu eyakanze ateeberezebwa okubeera omutemu eyabadde akyali mu kasiko n’awamattukayo n’adduka. Ono, yalabiddwa abaana abaategeezezza nti ye Kafeero.

Abatuuze beekozeemu omulimu okuyigga Kafeero ku byalo bisatu okuli Kiryowa, Kafunta ne Butema n’ababula kyokka omuwandiisi w’ekyalo Kiryowa, omwana eyattiddwa gye yabadde abeera, Charles Oloo n’amulonkoma gye yabadde yeekukumye.

Abatuuze abaabadde bataamye obugo akasiisira baasazeewo okukateekera omuliro, Kafeero afiiremu kyokka ne yeebikka ebbaati.

Poliisi yatuuse ng’essubi lyonna liyidde ne bamenya oluggi ne bamukukunulayo kyokka abatuuze ne baagala okumubaggyako amasasi ne ganyooka.

Oloo yagambye nti, Kafeero bamulinako emisango ebiri mu kakiiko egy’okusobya ku baana era bamumanyi ng’omu ku bavubuka abamenyi b’amateeka ku kyalo.

Okutta Mbabazi, abatemu baasooka kutta omwana omulala Shakira Mpande 12, ku kyalo Bukabala nga December 2, 2019.

Bukabala kiriraanye Kiryowa byombi ebisangibwa mu ggombolola y’e Njeru e Buikwe.

Robert Nsubuga omu ku bakulembeze mu kitundu kino yagambye nti, balina ekizibu ky’amasamba g’ebikajjo agabetoolodde, abamenyi b’amateeka mwe beekukuma ate ye Omuwalimu w’omuzikiti ku kyalo, Abdallah Ntende yagambye nti, abavubuka basusizza okukozesa ebiragalalagala.

Hilary Mukiza aduumira poliisi y’e Njeru yagambye nti, omulambo gwa Mbabazi baagutte mu  ggwanika e Jinja ate Kafeero bamukuumira mu kaduukulu e Njeru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans