TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvubuka yeekyaye ne yeefumita ekiso kujula kwetta!

Omuvubuka yeekyaye ne yeefumita ekiso kujula kwetta!

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2020

OMUVUBUKA avudde mu mbeera e Kasubi n’abaka akambe n’akeesogga emirundi egiwera mu kifuba mu lujjudde lw’abantu.

Teba 703x422

Abadduukirize nga bataasa obulamu bw’omuvubuka ono.

Zaabadde ssaawa 12:30 ez’akawungeezi omuvubuka ono eyategeerekese nga Sadic Ndizigimaana bwe yagenze ku katale akamanyidwa nga Kawangi e Kasubi n’alumba omudaala gwa chapati ogwabadde okumpi n’abaka akambe akaabadde ku kimeeza n’atandika okukeesogga mu kifuba emirundi egiwera.

Okusinziira ku David Kateregga ow’ebyokwerinda mu Kasubi zzooni 4, ono olwamaze okwefumita ne yesuula mu luguudo emmotoka zimutomere afe.

Wano abadduukirize we baamusangidde nga asigaddeko kikubamukono kyokka nga taliiko kigambo kyonna ky’ayogera okuggyako okwogera amannya ge.

Abasawo okuva mu kalwaliro akaliraanyeewo baamuwadde obujjanjabi obusookerwako oluvannyuma n’ateekebwa ku kabangali ya poliisi ne bamuddusa mu ddwaaliro ng’ataawa.

Okusinziira ku Brown Kanyamunyo atwala ebyokwerinda mu muluka gw’e Kasubi omuvubuka ono tamanyiddwa mu kitundu. Yavumiridde ekikolwa kye yeetuusizzaako.

Kanyamunyo yakubirizza abantu okuyiga okubuuliranga ku bantu be beesiga oba abakulembeze ku bizibu bye baba balimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...