TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyagobye Nnaalongo we mu ddya gamumyukidde ku poliisiAbantu

Eyagobye Nnaalongo we mu ddya gamumyukidde ku poliisiAbantu

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd January 2020

SSEMAKA eyagobye nnaalongo we gw’alinamu abaana bataano mu nnyumba akaabidde mu maaso g’abaserikale n’abeegayirira obutamuyingiza mu kaduukulu kubanga alina obuvunaayizibwa bungi.

Tundo 703x422

Omuserikale ng’ataawuluza Ssekaayi (mu kajoozi wakati) okumuggya ku batuuze.

Ssaalongo Ramadhan Ssekaayi, ddeereva w’emmotoka ezitambuza ebizimbisibwa e Kawempe ku kisaawe, yawuniikirizza abatuuze bwe yeefuulidde mukyala we gw’abadde naye emyaka 28 n’amusuulira ebintu ebweru n’ekigendererwa eky’okuwasirizaamu omugole.

Kyokka abatuuze nga bayambibwako abakulembeze ne poliisi baamulemesezza n’aggalirwa e Kawempe ku poliisi.

Bino byabadde mu muluka gwa Kawempe 1 mu Kalule zzooni.

Hawa Namuyanja (Nnaalongo) yannyonnyodde bw’ati:

Nnabadde hhenze Katooke –Nansana kujjanjaba maama. Nagenze okudda nga baze ebintu byange abisudde wabweru, namubuuzizza ekigendererwa kye n’agamba nti takyanneetaaga.

Mbadde naye mu bufumbo okumala emyaka 28, nga tulina abaana bataano okuli n’abalongo.

Abadde yatunsuulaawo emyaka musanvu egiyise oluvannyuma lw’okufuna omukazi omulala.

Bwe yategedde nti nvuddewo awaka kwe kusuula ebintu byange wabweru n’oluggi n’aluteekako kkufulu.

Nneekubidde enduulu eri LC nabo abansidise ku poliisi e Kawempe kyokka baamuyise n’agaana okugendayo.

Abatuuze nga bakulemberwa Rashidah Naluwooza kkansala wa Kawempe- North, beegayiridde Ssekaayi aggulire Nnaalongo naye n’agaana.

Abaserikale okuva ku poliisi y’e Kawempe bazze ne bataawuluza Ssekaayi ku batuuze abaabadde baagala okumugajambula.

Ng’ali ku poliisi, Ssekaayi yakaabye nga bw’alaajanira abaserikale obutamusiba kubanga talina musango.

Yalumirizza owa LC I ku kitundu okubeera emabega w’okumusibya kubanga yaliko muganzi wa mukyala we (Namuyanja) n’agamba nti abaana agenda kubatwala ku DNA kuba bonna tabeekakasa. Yagambye nti ebintu okutoba ennyumba mwe bibadde ebadde etonnya noolwekyo yabadde abifulumizza kuddaabirizza munda.

Abaana okuli; Jawada Ssekaayi, Jamida Nadia Namuli, Gibreal Tondo, Jamir Wasswa ne Janat Nakato baalumirizza kitaabwe okubatulugunya nga tabagulira mmere awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....